Aba City tyre bajunye aba Kampala Club

Aba Kampala Club batongozza empaka ezikomekkereza obukulembeze ezaakazibwako Chairmans Cup nga zitandise okuzannyibwa leero ku bizannyiro bya kiraabu eyo e Nakasero.

Kampla Club
By Silvano Kibuuka
Journalists @New Vision

Aba Kampala Club batongozza empaka ezikomekkereza obukulembeze ezaakazibwako Chairmans Cup nga zitandise okuzannyibwa leero ku bizannyiro bya kiraabu eyo e Nakasero.

Bano baakumala wiiki nnamba nga bavuganya mu mizannyo okuli ttena eyoku ttaka (Lawn Tennis), badminton (ttena ey’ekyoya), squash (ttena eyoku kisenge), table tennis (ttena ey’oku mmeeza), darts (akafumu k’oku kisenge), okuwuga, scrabble (ennukuta), omweso, okutambula wamu ne chess.

Bano bagenda kuvuganyiza wiiki nnamba.

Kkampuni ya City Tyre y’etadde ensimbi mu mpaka zino bw’ebawadde ebikopo 92 ebigenda okugabirwa abawanguzi.

Kitunzi wa City Tyre, Herbert Bashasha ategeezezza nti batadde ensimbi mu mpaka za Kampala Club Chairmans Cup olw’okwagala okuwagira abagenda okwetabamu kubanga balina obuvunaanyizibwa okujjumbira emizannyo babe eky’okulabirako eri abantu bangi n’ebitongole gye bava okwegattira ku Kampala Club.

“Bano bantu baabuvunaanyizibwa era okubazzaamu amaanyi okuvannya kiyamba ebitongole gye bakolera nabyo okwettanira emizannyo,” Bashasha bwe yategeezezza.

Ye ssenteba wa Kampala Club, Eliot Ainomugusha ategeezezza nti empaka zino zirina akalombolombo okuviira ddala mu 1911 kiraabu eyo lwe yatandikbwawo ng’empaka bazizannya buli mwaka era nga zitegekebwa ssentebe aba ali mu ntebe.

“Kano kalombolombo kaakukyusa bukulembeze bwa ssentebe. Tusiima aba City Tyre okuteeka ssente mu mpaka zino. Tezikoma ku kuyamba ba mmemba kunyumirwa n’okujjayo talanta wabula n’okubeera fiiti okwewonya ebirwaddelwadde,” Ainomugisha bwe yategeezezza.

Agambye nti ba mmemba mu kiraabu eyo bawera 600 nga abasoba mu 200 be bagenda oketaba mu mpaka zino ezikomekkerezebwa ku Lwomukaaga