Embeera y'omugagga Kitandwe eyaddusiddwa mu ddwaliro e Nairobi ng'ali bubi eyongedde okulongooka

OMUGAGGA Tom Kitandwe nannyini bizimbe okuli Gazaland ku Ben Kiwanuka, Galiraya , Grand Corner  Plaza n’ebirala  addusiddwa mu ddwaliro lya Nairobi Hospital mu Kenya nga biwala ttaka

Omugagga Tom Kitandwe
By Mutebi Joseph
Journalists @New Vision

OMUGAGGA Tom Kitandwe nannyini bizimbe okuli Gazaland ku Ben Kiwanuka, Galiraya , Grand Corner  Plaza n’ebirala  addusiddwa mu ddwaliro lya Nairobi Hospital mu Kenya nga biwala ttaka.

            Kitandwe yafunye obuzibu mu kussa ku Lwokusattu lwa wiiki ewedde  ng’ali ku mulimu gw’okulabirira  ekizimbe kye kyazimba ku Arua Park mu Kampala n’addusibwa mu ddwaliro okumpi ne Fairway Hotel e Nakaseero.

            Eno gye bamuggye ne bamuduusa mu ggwanga lya Kenya mu ddwaliro lya Nairobi Hospital nga bagagga banne okwabadde Guster Lule Ntake ne Badru Muwanga owa Luka Plastics bayambyeko aba ffamire ne bapangisa ambulensi ye nnyonyi eyamunoonye mu Uganda okumutwala e Kenya ng’ali ku byuma.

            Ensonda mu bagagga zategezezza nti Kitandwe aludde ng’alina obuzibu mu mawugwe nga kigambibwa nti engeri gy’ali nti mugagga nnyo ate wanjawulo ku banne ye bwegutuuka ku mulimu gw’okuzimba ekizimbe ekibeerako okuva lwe kitandika okutuusa lwe kiggwa ng’akeerawo ku makya okutuuka olw’e ggulo era yagufula mulimu okulambula ebizimbe bye byonna mu Kampala okulaba nti buli kimu kitambula bulungi.

            Kirowoozebwa  nti omusenyu ne nfuufu ebirudde nga bimufumukira byamuyisa bubi mu mawugwe era nga kirabika kye kyaviiriddeko okukoosebwa mu mawugwe ge.

            Wabula kyategerekesse ku Lwokubbiri lwa wiiki eno Kitandwe yabadde atandise okuwulira obulungi era nga obwedda abagagga banne bakubira ku mukyala we Jane Kitandwe ne mutabani we Jjemba Kitandwe abamugendeddeko ne babagumya nti omukulu embeera ye etandise okussanyusa.

            Ssentebe w’abasuubuzi mu ggwanga abegattira mu KACITA Dr. Musoke Nagenda yategeezza Bukedde nti kituufu Kitandwe bafunye amawulire nti mulwadde naye nga mu kiseera  kino famire ye yokka yesobola okwogera ku mbeera entuufu gy’alimu

            Wadde Kitandwe alina ssente n’obwana bwazo, naye engeri gy’ali mu kibiina kya Kwagalana balina enkola ey’okusondera bannaabwe ensimbi nga balwadde oba bafiiriddwa oba abaana baabwe banjula. Era mukoowe eryo basazeewo okutandika okusondera munnaabwe Kitandwe ku nsimbi z’okumujanjaba.

            Ssentebe wa Kwagalana Godfrey Kirumira Kalule yawaddeyo ddoola 2000, eza wano [7,600,000/-] Joseph Yiga owa Steel And Tube 7,600,000, Emanuel Katongole owa Quality Chemicals 7,600,000/-, Ephraim Ntaganda 3,800,000/- Agnes Babirye 3,800,000/- Joseph Lutalo Bbosa owa Forest Park e Buloba 3,800,000/-,  Mansoor Matovu Yanga 3,800,000/- , FAIJK ENTERPRISES 3,800,000/- ne  Chalrles Kakumba Ssemwogerere owa Kakumba Motors e Katwe 1,000,000/-.