Rashid Lukwago agobye bakazi be 3 n’ayingizaawo embooko ya Pasita Yiga

SADDAM Rashid Lukwago amanyiddwa mu kutunda eddagala ly’ekinnansi agobye bakazi be basatu omulundi gumu n’ayingizaawo embooko ya Paasita Yiga.

Rashid Lukwago ne Sharuwa ku bbiici..jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Rashid Lukwago #agobye #embooko #Pasita Yiga

Bya Josephat Sseguya

SADDAM Rashid Lukwago amanyiddwa mu kutunda eddagala ly’ekinnansi agobye bakazi be basatu omulundi gumu n’ayingizaawo embooko ya Paasita Yiga.

Eno y’embooko eyatiribirizanga ebbina ku ttivvi ya ABS eya Paasita Augustine Yiga Abizzaayo (yafa) ng’esoma amawulire mu ddoboozi lya sitiiriyo gattako okutunula ng’eroola ng’omugole ali mu kisenge!

Oyo y’omu era abadde mukazi w’omusajja eyeeyita Ghetto King eyasooka okubeera omuyimbi oluvannyuma n’atandika okukulembera ebifo bya ghetto n’okuwa abamu ku baamu obuyambi. Amulinamu abaana basatu ate gw’afumbiriddwa Dr. Saddam Lukwago agamba nti alina abaana 17.

Saddam abadde alina abakyala basatu be yayawukanye nabo ng’agamba nti abadde atawaana nabo mu ngeri z’ataayagadde kwatuukiriza.

Kyokka omwaka oguwedde okutabuka ne bakyala be kwalinnya enkandaggo olw’okukebeza abamu ku baana n’azuula nga si y’abazaala.

 

Mu bamu ku baana mwe mwali n’omu ku bakulu be yali amaze okuweerera era Lukwago yategeeza bw’abadde amutendese eby’eddagala mu yunivasite n’akizuula nga si wuwe n’amweggyako mu bulumi.

Okukimanya yamala kulooperwa bawala be abato nti mukulu waabwe embeera gy’abatunuuliramu abalaba ng’abatali bannyina nti yali abalingiza ekyamuleetera okumukebeza omusaayi.

Lukwago yategeezezza nti ekyasinga okumutabula ate be bakyala be abaamunyiigira ng’atandise okukebeza abaana kyokka ng’ate bo teyabanyegako nti yeekengera abaana baabwe.

“Omu ku bo twatabukira ddala okuva olwo naye ng’ate akimanyi sinnayogera ku bya kukebeza baana be. Oyo era ye yasembyeyo okwawukana nange. Namubuuza bw’oba abaana okimanyi nti bange, ekikuluma kye ki?” Lukwago bwe yamalirizza n’agamba nti agenda kwongera okukebeza abaana 17 b’alina kati ayongere okuzuula amazima.

Agamba nti okwawukana ne bakyala be, yamaze kubawa mayumba ge yabazimbira n’ebiwandiiko byago n’agamba nti ne bwe baagaliramu abasajja abalala tekimukwatako kubanga yabatalase kati alina Sharua yekka. Sharuwa babadde bamuyita Sharon n’adda mu Busiraamu.

Sharuwa gw’ayogerako ye mugole gwe yataddeko akaweta nkusibiddaawo ku Ssande ku Kaazi Beach e Busaabala nga bw’amema era baakumbye mu ngeri y’okulumya, Lukwago n’agamba nti, oyo ye mukyala gw’agenda okusembayo okuwasa amuwe emirembe kubanga akuze ate akooye n’eby’abakyala abangi.

“Muwasizza mu lwatu era nga talina mpeta nze ngimutaddeko wadde ndi Musiraamu nga tetutera kusiba mpeta. Maze emyaka ebiri ng’abakyala abo twatabuka dda.” Lukwago bwe yagambye.

Sharuwa yategeezezza nti wadde alina abaana basatu mu bufumbo gy’avudde, Ghetto King tamuwasangako abadde nga mukwano gwe.