Katikkiro Mayiga alambudde Ekisaakaate kya Nnaabagereka n’asoomooza abasajja

EKISAAKAATE kya Nnaabagereka eky’omulundi ogw’e 18 ekibumbujjira ku Janan SS e Bombo-Kalule kiyingidde olunaku olw’ekkumi.

Katikkiro Mayiga n’abamu ku baana abali mu Kisaakaate ku ssomero lya Janan School e Bombo Kalule. Emabega ye Mike Kironde nnannyini ssomero, Minisita wa Kabaka Cotilda Nakate, Minisita Joseph Kawuki n
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EKISAAKAATE kya Nnaabagereka eky’omulundi ogw’e 18 ekibumbujjira ku Janan SS e Bombo-Kalule kiyingidde olunaku olw’ekkumi.
Abayizi abasukka 500 be bakyetabyemu era bano Katikkiro wa Buganda yabakyaliddeko okulaba embeera mwe bali na biki bye bakola.
Yasoomoozezza abaami okukomya okwesulubabba obuvunaanyizibwa bw’okulabirira, okukuza n’okugunjula abaana bwe batyo ne babulekera abakazi bokka ng’ate nabo okubeerawo mu kusoma, okujjanjabwa n’enkula y’abaana baabwe, kikulu nnyo.
“ Abaana mubeere kumpi nabo naddala Bataata. Teri kintu kinsanyusizza ng’okulaba wano Bataata. Abasajja twefuula nnyo bizze. Ne beefuula nti, balina emirimu mingi, mulimu ki ogusinga okugunjula abaana bo? Kya buvunaanyizibwa nnyo Taata, okufissaawo akadde eri abaana bo,” Katikkiro Mayiga bwe yasabye.
Mayiga yagambye nti, abanene bangi mu ggwanga lino abalina abaana naye nga bye bakola bibakaabya maziga naye ng’ekyo kiggyawo lwakuba tebafissaayo budde kubagunjula nga bwe bakula, beekola obusolosolo.
Ekisaakaate kino kitambulidde wansi w’Omulamwa ogugamba nti, “Okukwanaganya Obuwangwa ne Tekinologiya”, nga kyatandika January 4, 2025 nga kyakukomekkerezebwa nga January 18, 2025.
Ssaabagunjuzi w’Ekisaakaate, Rashid Lukwago alambuludde kw’ebyo ebikoleddwa abaana bano okuva lwe bajja okuli; okusiba empombo, okuluka ebitambala n’ebizannyisibwa, okuwuga, okuyimba ne katemba n’ebirala era n’alaga essuubi nti, bagenda kuddayo eka nga bafuuse abantu abaggya.
Katikkiro yawerekeddwaako ne Minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki n’abakungu abalala nabo abalina abaana mu Kisaakaate kino era n’alambuzibwa Omukungu Adrian Mukiibi, akulira Nnaabagereka Development Foundation