DNA; Walukagga azudde 4 abatali babe

OMUYIMBI Mathias Walukagga atutte abaana mukaaga okubakebeza omusaayi (DNA) n’asangako babiri bokka nga be babe.

Walukagga
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUYIMBI Mathias Walukagga atutte abaana mukaaga okubakebeza omusaayi (DNA) n’asangako babiri bokka nga be babe.
Walukagga nga ye ssentebe wa Kyengera Town Council, yannyonnyodde nti emmanduso y’okukebeza abaana be yali musajja eyali aludde ng’amwesomerako, ssaako okumutiisatiisa okumutuusaako obulabe ne ffamire ye bw’ataamuwe mwana we, kyokka n’asooka abitwala ng’ebyolusaago.
Akatambi akaafulumiziddwa omu ku ba bbulooga, Saymore kalaga Walukagga ng’alombojja engeri gye yatuuka okukebeza abamu ku baana be, okukkakkana nga ku baana mukaaga be yatwala, alinako babiri bokka.
Agamba nti obudde gye bwakoma okugenderera, yazuula nti akaayana ayinza okukolawo akatiisa kwe kuguma n’atwala abaana okubakebera.
Olwokuba abaana be yatutte bakulu nga kuliko amaze S6 n’omulala S4, yabagambye nti alina enteekateeka z’abakolera emitala w’amayanja nga bamugambye alage obukakafu nti ddala ye kitaabwe. Yagambye nti yabadde tasobola kutwala mwana omu yekka akaayanirwa ng’alaba nti kijja kuleetawo akabuuza mu baana, kwe kutwala bonna abali awaka ne babakebera.
Nti oluvannyuma lw’okumanya ebyavudde mu kukebera, yayise bamaama b’abaana bano ne bakkiriza nti si babe ne babagabira bakitaabwe kyokka omusajja eyasoose okukaayana eyavuddeko bonna okubakebeza, teyeesobola.
ENNYIMBA ZA WALUKAGGA EZIRAAJANA KU BY’OKUMUSIBA ABAANA
q Walukagga yasooka kukuba luyimba lwa ‘Kitaawuluzi ku baana’ mwe yeefaanaanyiriza omugenzi Herman Basudde (Nabbi w’abayimbi) eyali ayeeya abakyala era naye yasooka kubayeeya mu luyimba ng’agamba nti bazibu ku by’abaana. Yasaba abasajja balemereko nga tebannava mu ddwaaliro abaana bakolebweko DNA gye yayise ekitaawuluzi babatwale awaka nga bakakasiddwa.
q ‘Mukomusajja’. Mu luno, Walukagga yali alaga obweraliikirivu nti singa ava mu nsi, olwebeeya lwa bannamwandu lusobola okujjula oluggya.
Agattako nti ye singa akung’aanya abakyala b’ayagaddeko, bwe zibeera ssente yandibadde na nnyingi. Obubaka obusinga mu luyimba bulaga muk’omusajja bw’abeerako enkaayana ezikira ne ku z’ettaka ng’omwo mwe musobola okujjira n’akusiba abaana.
ABANTU ABAZZE BAFUNA OBUZIBU KU BYA DNA
l Munnabyabufuzi Zakayira mu Nakayiba gye buvuddeko yanyumizza ne Bukedde bwe yawasa omukyala n’amuwa buli kyabugagga kyokka abaana n’abazaalira muntu mulala n’amulimba nti babe ye (Nakayiba) nga si kituufu.
l Dokita Saddam Rashid Lukwago eyatwala abaana be okubakebeza n’azuula ng’omusika we gwe yali amaze okusomesa mu yunivasite ez’amaanyi n’amutendeka n’emirimu nga si yaamuzaala.
BASEREEBU BASAZE AMAGEZI OBUTABASIBA BAANA NGA BAVUDDE MU NSI
Bano balabidde ku Paul Kafeero okuva lwe yafa mu 2007 n’aleka abaana abateeberezebwa okubeera mu 20 kyokka nga kati kigambibwa nti alinako 4 bokka.
Abayimbi, bannakatemba n’abantu ab’amannya abalala bazze basala amagezi obutatuuzibwa mu bintu bya butalabirira baana ate nga si be babazaala. Abalala beewala kuva mu nsi ne babaggyako oba okubasiba abaana bafunireko emmaali.
1. Jose Chameleone: Ono yategeezezza Bukedde gye buvuddeko nti baamuggyako omusaayi ne guterekebwa mu ‘labalatole’ ey’amaanyi mu Kampaka nti singa abeera avudde mu nsi ne wabaawo abaleeta abaana abatankanibwa, tebeetaaga kumuziikula wabula okubakebereza ku ogwo gwe baatereka mu firiigi.
2. Andrew Mukasa – Bajjo: Ono yategeezezza Bukedde nti alina abaana 7 mu bakazi 7, n’ekiraamo yakimaze tebaleeta abasukkawo nga tali ku nsi. Agamba nti by’ayiseemu n’abaana si byangu era okuzaala yakusiriikiriza nga bw’aliba azzeemu alikyusa ekiraamo.
3. David Lutalo: Ono eyasangiddwa mu situdiyo ye eya Double Kick e Bunamwaya, yategeezezza Bukedde nti agenda kuggyibwako omusaayi guterekebwe naye yeewale ebiyinza okuddirira nga bamuzizika abaana.
WALUKAGGA AWADDE ABASAJJA AMAGEZI KU BY’OKUKEBEZA ABAANA
Okwewala ekyatuuka ku Ibrahim Musisi ow’e Mukono, muganzi we, Patricia Birungi gwe yasiba omwana kyokka ku myaka 11 mu 2018 n’amuwa kitaawe omulala ekyakozza Musisi okuva mukiro 80 n’asibira mu 50 mu bbanga ttono, Walukagga awa amagezi abasajja nti bw’osalawo okukebeza abaana olina kusooka kumira ppini olw’ebivaamu ebiyinza okukukutula omutima.
Musisi na kati akyalaajana, asaba Palamenti ebage etteeka erivunaana abakyala abasiba abasajja abaana ne babalabirira ate mu maaso eyo ne babawa bakitaabwe bo be bayita abatuufu.