Bannankobazambogo basomeseddwa amakulu g'okuwaayo obuyinza mu mirembe

SSABAGANZI Ssaalongo Emmanuel Ssekitoleko asabye abayizi abali ku mattendekero okufaayo okumanya ebikwata ku bika byabwe ate n'okubiweereza.

Bannankobazambogo basomeseddwa amakulu g'okuwaayo obuyinza mu mirembe
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

SSABAGANZI Ssaalongo Emmanuel Ssekitoleko asabye abayizi abali ku mattendekero okufaayo okumanya ebikwata ku bika byabwe ate n'okubiweereza.

Ssabaganzi nga y'abeera Kojja wa Kabaka Omutongole agamba nti ensangi zino abavubuka beesambye nnyo emirimu gy'ebika byabwe ekintu ekiyinza okuzingamya entambula y'emirimu gyabyo.

Okusaba kuno yakuweredde ku Muteesa I Royal Yunivasite ku ttabi ery'e Kakeeka-Mmengo bweyabadde omugenyi omukulu ku mukolo gw'okukyusa obukulembeze mu kibiina Kya Baganda Nkobazambogo n'agamba nti wadde basomye okutuuka ku ddaala lino,ebika byaabwe bikyabakwatako.

Bashir Ssaka abadde Ssentebe yeyakwasizza Micheal Mutaasa Lubega obuyinza obw'okutambuza ekibiina Kya Nkobazambogo ku Muteesa I Royal Yunivasite.

Ssabaganzi Ssekitoleko yeebazizza ekibiina Kya Nkobazambogo olw'okusiga mu bayizi ennono entuufu ez'obukulembeze okuli n'empisa y'okuwaayo obukulembeze kyeyagalire.

“Nange ndi munnalotale, buli mwaka tukyusa obukulembeze ate ekyo ky’ekikolebwa ne mu kibiina kya Nkobazambogo. Mbeebaza olw’ekyokulabirako kino ekiyambye okuyigiriza abavubuka obukulembeze obulungi,” Ssabaganzi Ssekitoleko nga ye Kojja wa Kabaka Omutongole bweyagambye.

Ssentebe wa Nkobazambogo mu Uganda, Adrian Lubyaayi yakubirizza olukiiko oluggya olukulemberwa, Micheal Mutaasa ebirayiro n'asaba okwewala obulyake n'enguzi mu buwereeza.

Omuyima wa Nkobazambogo ku Muteesa I Royal Yunivasite, Rashid Lukwago akikkiriddwa Omukwanaganya w'abavubuka mu Buganda, Hassan Kiyemba asabye Bannankobazambogo okutumbula ekibiina kino kubanga bakirinamu essuubi okubeera eky'okulabirako eri ebibiina ebirala.

Omukolo guno gwetabiddwako Omumyuka wa Cansala wa Yunivasite eno, Polof. Vicent Kakembo, Ddiini w'abayizi, Paddy Ssenkungu, Omumyuka wa Ssentebe w'abavubuka mu Buganda Derrick Kavuma n'abakulembeze abalala bangi okuva mu mattendekero ag'enjawulo.