SADDAM Rashid Lukwago abuze, bakyala bakulu ne bakiteeka ku mugole Sharon nti y’amanyi gy’ali.
Lukwago abadde wakati w’entalo okuli baganda be okumwegaana n’okumugoba mu kika kya kitaabwe, Hajji Dr. Rashid Lukwago eyafa mu 1995 nga bagamba nti abaswaza.
Abooluganda lwa Saddam Rashid Lukwago eyabuze baakuhhaanira ku Hotel Africana
mu March w’omwaka guno ne bagamba nti muganda waabwe oyo agezaako
okulaga nti y’asinga amaanyi mu kika n’ebyekika y’abitegeera ekitali kituufu ate ng’abaswaza bw’agenda awasaawasa.
Olwo Saddam Rashid Lukwago yali yaakawasa Sharon gwe balumiriza okumukweka era agenze okubula nga bamaze emyezi ebiri n’ekitundu n’omugole Sharon gwe yaggya
ku yali bba, omuyimbi Ghetto King.
Sharon yali akola ne Paasita Augustine Iga Abizzaayo ku ttivvi ya ABS ng’abigula
ebbina era waliwo abaali bagamba nti yali muninkini we.
Okuwasa Sharon, Lukwago yamala kutabuka na bakyalabe abasatu n’abalangira n’okuzaala abaana b’ateekakasa era yakola DNA n’azuula nti, omwana omukulu gwe yali amaze n’okutendeka eby’eddagala era nga gw’ategese okumusikira, si ye yali amuzaala.
Lukwago yasalawo okusuulawo bakazi be abo n’abalekera n’amaka buli omu ge yali abeeramu. Kyokka wadde yabalekera ebyapa byago, yabiteekako envumbo (caveat) nga tebasobola kutunda maka ago wadde okugeewolerako ssente. Wiiki ewedde, omusango
gw’okubulawo kwa Lukwago gwatwaliddwa ku poliisi y’e Nateete etwala ekitundu ky’e Wakaliga awali kkampuni ye eya Mukama talemwa Herbal mw’atundira eddagala lya
‘herbal’.
Okubula kwa Lukwago kuli ku fayiro nnamba; SDREF;64/17/06/2024 Sharon agambibwa nti y’ali emabega w’okubuzaawo Lukwago yabyegaanye nti naye yeekanga bwekanzi nga takomyewo waka okumunoonya we kwatandikira na kati (we twagendedde mu kyapa) bakyamunoonya. Waliwo abalowooza nti Lukwago yadduse ku Sharon mu bugenderevu. Lukwago ku ntandikwa y’omwezi guno yategeezezza Bukedde nti bateekateeka mukolo gwa kwanjula mu November 2024 era nga
n’ebintu baamaze okumusalira omuli n’ente 12.