Katikkiro akyaliddeko abaana abali mu kisakaate n'asomooza abazadde

Katikkiro Mayiga ng'ayogerako eri Abasakaate
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asomozezza abaami okuwaayo obudde mu kugunjula abaana baabwe. 
 
Mayiga agamba nti abaami tebasaanye, kusuula buvunanyizibwa bw'okugunjula abaana okuli okubatwala ku ssomero n'okubakimayo, okugenda mu nkiiko, kubulekera bakyala bokka. 
 
Katikkiro Mayiga okuwabula bwati asinzidde ku ssomero lya Janan SS e Bombo-Kalule e Luweero mu ssaza ly'e Bulemeezi nga January 11, gyabadde ng'ayogerako eri abaana abeetabye mu Kisaakaate Kya Nnaabagereka ekigenda mu maaso.
 
Ku lunaku lwe lumu, kwabaddeko Olukiiko lw'abazadde abalina abaana mu Kisaakaate nga nabo nayogerako gyebali. 
 
" Abaana mubeere kumpi nabo naddala Bataata.Teri kintu kinsanyusizza ng'okulaba wano Bataata. Abasajja twefuula nnyo bizze. Nebeefuula nti balina emirimu mingi,mulimu ki ogusinga okugunjula abaana bo.Kyabuvunanyizibwa nnyo Taata,okufisaawo akadde eri abaana bo," Katikkiro Mayiga bwasabye.  
 
Mayiga mu kwogerako eri abaana abasabye okubeera abeegendereza naddala nga bakozesa omutimbagano era neyeebaza aba Janan SS olw'okutegeka Ekisaakaate ky'Omulundi guno ogwe 18 mu ngeri ey'omulembe. 
Abasakaate

Abasakaate

 
Minisita w'enkulakulana y'abantu mu Buganda era avunanyizibwa ku ofiisi ya Nnaabagereka, Cotlida Nakate Kikomeko, alaze okwenyumiriza olw'omutindo Ekisaakaate kwe kituuse nti Kati Abamu ku Bagunjuzi, baaliko Abasaakaate.
 
Ekisaakaate kino kitambulidde wansi w'Omulamwa ogugamba nti" Okukwanaganya Obuwangwa ne Tekinologiya," nga kyatandika January 4 nga kyakukommekkerezebwa nga January 18,2025.
 
Omukungu Mike Kironde owa Janan Schools e Bombo-Kalule ne Kabalagala e Kampala yeebazizza abagunjuzi olw'empisa zebatadde mu baana bano era n'asaba nti beetegefu okukyaza Ekisaakaate emirundi gyonna Nnaabagereka gyanabeera ayagadde. 
 
Ye Ssabagunjuzi w'Ekisaakaate, Rashid Lukwago alambuludde kweebyo ebikoleddwa abaana bano okuva lwebajja era n'alaga essuubi nti bagenda baddayo eka nga bafuuse abantu abaggya.