OMUKOZI wa Bukedde Famire Ssuuna Ben ne munnywanyiwe MbaziiraTonny batabudde ebinyaanyanyaanya ne balalula abadigize ne batandika okumennya amatabi g'emiti kumpi kugamala mu kibira.

Abadigize nga banyumirwa endongo y'ebinyaanya
Bano ebinnyaanya babitabulidde mu ndongo ebadde mu kibira ekiriraanye ennyannja y'e Biriinzi mu ggombolola y'e Bukakatta mu Masaka.

Abadigize nga banyumirwa omuziki
Abadigize beeyiye mu bungi mu kibira kino mwe basuze nga babinuka olw'okwekulisa okutuuka ku mazaalibwa Yesu Kristo n'olwa Boxing y'omwaka guno ogwa 2023 nga bwe beesunga n'ogwa 2024.