Amawulire

Balaam alondeddwa ku bwa Pulezidenti bw'abategesi b'ebivvulu

EKIBINJA kyaba pulomoota ekirala kironze obukulembeze ne basaba bannaabwe abaalonda wiiki ewedde nga bakulembeddwa Abtex okubeegattako bakomye ebintu by’obuvuyo. 

Balam ng'ayogera oluvannyuma lw'okulondebwa
By: Kamya Ignatius, Journalists @New Vision

EKIBINJA kyaba pulomoota ekirala kironze obukulembeze ne basaba bannaabwe abaalonda wiiki ewedde nga bakulembeddwa Abtex okubeegattako bakomye ebintu by’obuvuyo. 

Bano abeggatira mu National Entertainment Promoters Federation leero bwebabadde ku wooteri ya Alure e Mutundwe balonze Balaam nga Pulezidenti waabwe nga wakumyukibwa abantu basatu okuli Daudi Bora, Moses Lubulwa ne Mariam Mutakubwa (Biggie) era nga balonze n’abakulira obukiiko obw’enjawulo nga Musa Kavuma (KT) ku ky’ebyensimbi, Juma Balunywa ku ky’obwogezi, Halimah Namakula ku ky’akulira abantu mu biti eby’enjawulo “Special intrest” n’abalala. 

Okulonda kyadiride okuyiwa akakiiko ak’ekiseera akabaddewo nga kakulemberwa Abtex eyasalawo okutekawo ekibiina ekirala era gyebamulondera nga Pulezidenti wiiki ewedde. 

Abategesi b'ebivvulu nga bamaze okulonda

Abategesi b'ebivvulu nga bamaze okulonda

Balaam agambye nti ekibiina kyabwe kiriwo mu mateeka era nga Gavumenti ebamanyi bulungi nga yensonga lwaki babasindikidde Francis Peter Ojede akulira Uganda National Cultural Center (UNCC) okubalondesa. 

Ku nsonga y’okuleeta eby’obufuzi mu kibiina Abtex zagamba nti yemu ku zamuggyayo, Balaam asuubiza ba pulomoota banne nti ne wankubadde nga muwagizi wa Pulezidenti Museveni ne Gen.Muhoozi naye tagenda kuleeta bya bufuzi mu bukulembeze bwa kibiina kubanga akimanyi bulungi nti akulembera abantu abawagira ebibiina eby’enjawulo. 

Ojede agambye nti kino bbo kyebaagala okukolagana n’abantu abalina obukulembeze obulungi kubanga kyanguya emirimu era abakubiriza okukola semmateeka abafuga okusobola okulaba nga tewadamu kubawo buvuyo. 

Tags: