Bino Katikkiro abyogeredde Bulange Mmengo bw'abadde asisinkanye Bannabitone; Ssuuna Ben owa Bukedde TV ne Leediyo wamu ne Tonny Mbazira nga bakyadde embuga okumwanjulira ekitabo kyabwe ekyawandiikiddwa ku bulamu bwabwe n'abasaba n'okukozesa obulungi ensimbi ze babeera bafunye okwekulaakulanya.
Mbaziira Tonny ne Ssuuna Ben nga basisinkanye KatikkiroCharles Peter Mayiga
Mu kwogera kwe Ssuuna Ben yeebazizza Kabaka olw'okulonda Katikkiro Charles Peter Mayiga aggya obulungi mu mulembe gw'abavubuka era n'amwebaza olw'okubayita okubasisinkana kubanga abantu bangi babadde banyooma nnyo ba DJ.
Ye Mbazira ategeezezza Katikkiro nti bagoberera nnyo obubaka obulimu okuyayaana n'obuteekubagiza mu bye bakola era n'agamba nti baakusigala nga batambulira mu kukuba abadigize endongo y'ebinyaanyanyaanya.
Katikkiro Mayiga ng'ayaniriza Ssuuna Ben ne Mbazira Tonny mu ofiisi ye
Ekitabo ; 'Emboozi ya Mbazira Tonny ne Ssuuna Ben' kyawandiikiddwa Brian Paul Kakooza nga kiri mu Lulimi Luganda.