Lukwago ayagala wateekebwewo ekijjukizo kya Benedicto Kiwanuka

LOODI mmeeya wa Kampala, Ssaalongo Erias Lukwago asabye gavumenti okuteekawo ekijjukizo Bannayuganda kwe bayinza okujjukirira emirimu gy’eyali Ssaabalamuzi Benedicto  Kiwanuka.

Lukwago ayagala wateekebwewo ekijjukizo kya Benedicto Kiwanuka
By Ponsiano Nsimbi
Journalists @New Vision
#Amawulire

Bino abyogeredde mu Lutikko e Lubaga mu mmisa y'okujjukira emyaka 49 Kiwanuka Kagimu bukya attibwa ku mulembe gwa Idi Amin.

Yategeezezza nti ebisigalira bya Kiwanuka tebimanyiddwako mayitire era talina malaalo ng'engeri yokka gye bayinza okumujjukiramu kwe kuteekawo ekijjukizo ky’ekibumbe kye mu Kampala wakati, ssaako okuteeka mmotoka ye mu tterekero lya gavumenti ery’ebikadde.

Loodi mmeeya oluvannyuma lwa mmisa

Loodi mmeeya oluvannyuma lwa mmisa

Lukwago yennyamidde olw'engeri essiga eddamuzi n'ekibiina omwegattira bannamateeka ekya Uganda Law Society gye bigenze biggya enta mu nteekateeka z'okujjukira omuzira w’eggwanga Kiwanuka ng'ate n'okuttibwa abaamuwamba baamuggya mu ofiisi ye nga Ssaabalamuzi.

"Ebyafaayo bya Kiwanuka tebiggwa malojja kubanga buli wamu waali,"Lukwago bwe yategeezezza .

Ye Rev. Fr. Richard Nyombi bwanamukulu w'ekigo kya Mapeera Nabulagala eyakulembeddwamu mmisa yasabye abakulembeze okubeera abeesimbu n'okunywerera ku mazima mu buweereza bwabwe nga balabira ku Kiwanuka.

Omusumba Paul Ssemogere mu bubaka bwe obwasomedwa Fr.Alexender Kambagire yasabye gavumenti okwongera amaanyi mu kulwanyisa n'okumalawo  ebikolwa eby'ettemu ebikolebwa ku Bannayuganda kubanga buvunaanyizibwa bwayo obw'okukuuma abantu n’ebyabwe.

Kiwanuka yatiibwa mu April 22,1972, ku mulembe gwa Idi Amin.