OKUKWATIBWA kw’omumyuka w’omwogezi wa NUP, Alex Waiswa Mufumbiro kwongedde akasattiro mu kibiina ekyo olwa sipiidi ebitongole by’ebyokwerinda kwe biyoolera abakulembeze ne ba ‘Foot Soldiers’.
Mufumbiro amanyiddwa olw’obutaluma mu bigambo n’okwambalira yenna atunuza
‘omudumu’ mu Pulezidenti wa NUP, Kyagulanyi Sentamu ‘Bobi Wine’, yakwatiddwa eggulo ku Mmande bwe yabadde agenze mu kkooti e Kanyanya.
Mu kkooti e Kanyanya, Mufumbiro yabadde agenze n’abamu ku bakulembeze ba NUP ku by’emisango egivunaanibwa abakuumi ba Kyagulanyi ab’oku lusegere; Achileo Kivumbi ne Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe.
Abalala abaaleeteddwa mu kkooti e Kanyanya ye Calvin Tasi amanyiddwa nga Bobi Giant, Yasin Nyanzi, Toney Kaweesi, Sharif Lukenge ne Edwin Sserunkuuma nga yeeyita Eddie King Kabejja abaayooleddwa ebitongole by’okwerinda ku Lwokutaano.
EBIKWASIZA BOBI GIANT NE BA FOOT SOLDIERS
Bobi Giant, Nyanzi, Kaweesi, Lukenge ne Sserunkuuma baagattiddwa ku Eddie Mutwe ne Kivumbi abaali baakwatibwa edda mu musango egw’okukuba Bannamawulire n’okubanyagulula ng’omusangobaaguddiza Masaka. Wabula Mutwe ne Kivumbi baggulwako omusango omulala ogw’okukola Paleedi y’amagye ku kitebe kya NUP ku Makerere- Kavule okumpi ne Bwaise nga February 12, 2025 okujaguza amazaalibwa ga Kyagulanyi aga
43. Mu lutuula lwa kkooti y’e Kanyanya eggulo, Bobi Giant, Nyanzi, Kaweesi, Lukenge ne Sserunkuuma baagattiddwa kuEddie Mutwe ne Kivumbi ne basimbibwa
mu maaso g’omulamuzi Damallie Angumasiimwe ne bavunaanibwa omusango gw’okukola Paleedi y’amagye mu bumenyi bw’amateeka. Eddie Mutwe ne Kivumbi be baasoose okuleetebwa mu kkooti era bwe baayingiziddwa kkooti Achileo yayozezza ne ku mmunye, wabula Eddie Mutwe eyabadde atambulira ku muggo gw’abalema nga bw’amugumya nti “kijja kuggwa chali wange.”
Omu ku baana ba Eddie Mutwe, olwalabye kitaawe yadduse n’amugwa mu kifuba wabula abaserikale omwana ono omuwala atemera mu myaka nga 4 ne bamumuggyako.
EBYABADDE MU KKOOTI
Essaawa zaabadde zigenderera mu 6:00 ez’omu ttuntu, omulamuzi Angumasiimwe yayingudde kkooti eyabadde ekwatiridde abantu. Yasookedde ku fayiro
y’omusango oguvunaanibwa omubaka Nkunyingi Muwada (Kyadondo East) Derrick Nyeko (Makindye East) n’abalala 23 ku misango gye bazza mu March
2025 mu kampeyini z’e Kawempe North wabula n’agwongezaayo kutuusa nga October 23, 2025.
OMUSANGO GWA PALEEDI
Omulamuzi yazzeeko ffayiro ya Kivumbi ne Eddie Mutwe amangu ago omuwaabi wa gavumenti yasabye ffayiro eyongerweko abantu 5: Bobi Giant, Nyanzi, Kaweesi, Lukenge ne Sserunkuuma ne baleetebwa mu kaguli ne babasomera emisango 4 egyekuusa ku kukola paleedi y’amagye awatali lukusa lwa minisita.
Oludda oluwaabi lwategeezeza kkooti nti nga February 12 omwaka guno ku kitebe kya NUP e Makerere Kavule mu munisipaali ye Kawempe abawawaabirwa beetaba mu lukung’aana awatali lukusa kuva wa minisita. Oludda oluwaabi era lwagasseeko nti paleedi yakubwa n’ekigendererwa kya kutendeka bantu mu bukodyo bwa kinnamagyeekikontana n’etteeka lya Penal Code akawayiiro 45(1)(b) wamu n’okwekobaana okuzza omusango.
Abawawaabirwa bonna emisango bagyegaanyi, oludda oluwaabi ne lutegeeza kkooti nga okunoonyereza bwe kukyagenda mu maaso nga wakyaliyo n’abalala abatannakwatibwa.
Bannamateeka ba NUP nga bakulembeddwaamu Erias Luyimbazi Nalukoola ne Shamim
Malende baasabye abantu baabwe okweyimirirwa era ne bawaayo ababadde bazze okubeeyimirira wakati mu kuloopera omulamuzi nti ab’ebyokwerinda abali munda
n’ebweru wa kkooti basusse obungi ekyaviiriddeko n’abamu ku bantu baabwe okulemesebwa okuyingira kkooti nga n’omu ku baabadde bazze okweyimirirwa,
Mufumbiro yabadde akwatiddwa. Omulamuzi omusango yagwongezzaayo okutuusa nga September 29, 2025 lwe baddizibwa mu kkooti okuwulira okusaba kwabwe okw’okweyimirirwa.
AMAGYE GAYAZIZZA EWA MUFUMBIRO E NAKAWA
Akulira oludda oluvuganya mu Palamenti, Joel Ssenyonyi yategeezezza bannamawulire ebweru wa kkooti nti Mufumbiro yabadde afulumyemu katono mu kkooti kubaako by’agenda okukola, amagye ne gamukwata mu bukambwe ne bamuyingiza mmotoka ekika kya Toyota Noah nnamba UAK 368. Okukwatibwa kwa Mufumbiro kwazze nga n’akulira okukunga abantu mu NUP, Habib Buwembo yakwatiddwa ku Lwokutaano e Mityana gye yabadde okutongoza ofiisi za NUP. Mufumbiro olwaggyiddwa e Kanyanya gye baamukwatidde amagye gaamututte mu maka ge e Bbiina - Mutungo mu Division y’e Nakawa okugaaza nga kigambibwa nti baabadde banoonya byambalo by’amagye n’ebintu ebirala ebimenya amateeka by’alina. Kigambibwa nti Mufumbiro y’omu ku bakulembeze ba NUP abaakunga n’okutegeka aba Foot Soldiers abaakola paleedi y’amagye.
Munnamateeka Shamim Malende yategeezezza bannamawulire nti nga balooya tebannamanya kifo kituufu Mufumbiro w’akuumirwa. Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti Mufumbiro Poliisi y’emulina era
asuubirwa okutwalibwa mu kkooti
essaawa yonna.