AKALULU 2026: Akulira ebyokulonda aweze okusonda ssente

AKAKIIKO k’ebyokulonda kaweze mbagirawo emikolo gyonna egy’okusonda ssente omuli  n’egyamasinzizo n’ebifo by’olukale ebirala okutuusa ng’okulonda kuwedde.

AKALULU 2026: Akulira ebyokulonda aweze okusonda ssente
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

AKAKIIKO k’ebyokulonda kaweze mbagirawo emikolo gyonna egy’okusonda ssente omuli  n’egyamasinzizo n’ebifo by’olukale ebirala okutuusa ng’okulonda kuwedde.
Ssentebe w’akakiiko k’eby’okulonda, Simon Byabakama yasinzidde mu lukung’aana lwa bannamawulire ku kitebe ky’akakiiko mu Kampala n’alabula abeesimbyewo bonna obutetantala kwenyigira mu bikolwa eby’okugulirira abalonzi nga bagaba ssente enkalu, okugaba ebirabo oba okukola ebintu ebyekuusa ku bikolwa eby’okugulirira abalonzi ku mikolo.
Yagambye nti, amateeka gamuwa obuyinza okusazaamu omuntu yenna asingisiddwa omusango gw’okugulirira abalonzi singa wabaawo obujulizi.
Byabakama yagambye nti, akakiiko kagenda kuwandiikira abakulira ekibiina omwegattira enzikiriza zonna, ekya Inter-Religious Council ku nsonga y’emikolo gy’okusonderako ssente mu kiseera kino n’agamba nti, bano baludde nga bavumirira ebikolwa bino.
Yawadde n’ebiragiro munaana eri abeesimbyewo n’abalonzi okuli bye balina okugoberera;
1. Okwewala okukuba kampeyini ng’akakiiko tekannafulumya nteekateeka  yaazo.
2. Okugoberera ebiragiro n’amateeka g’akakiiko k’eby’okulonda mu kwewandiisa ne
mu kunoonya akalulu.
3. Abalina okwemulugunya ku kakiiko okukawandiikira mu butongole mu kifo ky’okuddukira mu mawulire.
4. Okukuuma emirembe
n’eddembe eri abeesimbyewo
n’abalonzi.
5. Abeesimbyewo ku lwabwe okufuna obubonero obunaateekebwa ku bukonge bw’okulonda nga basinziira ku bubonero 20 obwafulumizibwa akakiiko k’eby’okulonda.
6. Abanaava mu kalulu nga bamaze okusunsulibwa nga balina ebibiina ba ssaabawandiisi b’ebibiina banaawandiikira akakiiko mu butongole bwe batyo n’abatalina bibiina. 7. Okusasula ebisale ebyalambikibwa akakiiko okuvuganya ku bifo eby’enjawulo mu budde.  8. Abagenda okwewandiisa tebalina kugenda na mmotoka zisukka mu bbiri n’abantu abatasukka 10 ate nga zikkiriziddwa poliisi. Yagambye nti, abaagala okuvuganya ku kifo ky’obwapulezidenti baakusunsulwa wakati wa 23 ne 24 omwezi guno ku kitebe ky’akakiiko awagenda okuzimbibwa ekitebe e Lubowa. Okuvuganya ku bwa pulezidenti omuntu alina okuba nga takka wansi wa myaka 18, nga Munnayuganda omulonzi ng’alina n’emikono 100 egy’abalonzi okuva mu disitulikiti 100, ssaako okusasula obukadde 20