Abeegwanyiza kaadi ya NUP ku ky'omubaka wa Makindye East basimbidde Mulyanyama ekkuuli

Abavuganya balumirizza Mulyanyama okugezaako okutabangula ebyobufuzi bya Makindye East. Baawakanya nti si mutuuze wa kitundu, era si mulonzi eyawandiisibwa eyo.

Abeegwanyiza kaadi ya NUP ku ky'omubaka wa Makindye East basimbidde Mulyanyama ekkuuli
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Obutakkaanya bubaluseewo mu Makindye oluvannyuma lw’abantu bataano abaagala okukwatira NUP bbendera ku ky'omubaka wa Makindye East okusimbira  Al-Hajj Ali Kasirye Nganda amanyikiddwa nga Mulyanyama ekkuuli nga bagamba olwokaano aluyingidde buyise.

Abeegwanyiza entebe okuli; Patience Ayesigye, James Kayondo Wampamba, Aminsi Kaluba , Robert Ssekidde amanyiddwa nga Tuff B, ne Mw. bagamba nti ssi kya bwenkanya Mulyannyama okwesowolayo ku ssaawa esembayo n'ajja mu lwokaano akwatire NUP bbendera.

Abavuganya balumirizza Mulyanyama okugezaako okutabangula ebyobufuzi bya Makindye East. Baawakanya nti si mutuuze wa kitundu, era si mulonzi eyawandiisibwa eyo.

Mulyanyama

Mulyanyama

Omu ku beesimbyewo yategeezezza nti, “Makindye East si kifo bannabyabufuzi abalemye gye balina okusuulibwa okukira kasasiro. Tusaana tukulemberwe abatuuze ate nga balonzi so ssi abatali batuuze.”

Bagamba nti kino ekiriwo eky'okumala gayingiza abantu abatali ba mu kitundu kunafuya abaliwo abaalaga edda obwetaavu ne balangirira okwesimbawo  Balabudde nti ebikolwa ng’ebyo biyinza okusaanyaawo obumu bw’ebibiina n’okuzaala obuteesigagana mu bawagizi abeesigwa era abaagala ekibiina kya NUP.

Engeri Erinnya lya Mulyanyama gye lyenyizeewo ku ssaawa envannyuma

Abawakanya ekya Mulyannyama balumiriza nti oluvannyuma lwa Derrick Nyeko Derrick okulangirira nga bw'atagenda kudda mu lwokaano, abakukunavu mu NUP baawa Mulyanyama amagezi okuva e Makindye West, gye yali asoose okwegwanyiza, mu kifo kye kimu ne bamuwa amagezi adde mu Makindye East obolyawo yandikwatira NUP bbendera.

Sauda Madada

Sauda Madada

Bino we bijjidde ng'abamu ku bawagizi ba NUP abataafunye kaadi bakyatolotooma n'okulaga obutali bwenkanya ku ngaba ya tiketi y'ekibiina nga n'abaamu omuli Sauda Madada baatuuse n'okwewaggula ne baabulira ekibiina ne beesimbawo ku bwannamunigina.

Abatunuuliza bagamba nti singa zino enkaayana mu Makindye East tezinogerwa ddagala nga bukyali, kyandyonoona obululu bw'ekibiina mu ekirina enkizo eri abooludda oluvuganya.

Mulyanyama ayogedde ku kkaadi

Ng'ali ku ttivu emu, Mulyanyama yakkaatirizza nti amaaso ge gasigadde ganywedde ku kwesimbawo ku tikiti ya NUP akiikirire Makindye East mu Palamenti: “Pulaani A yange kaadi, Pulaani B era kaadi ya NUP, ate Pulaani C y'emu.”

Tuff B n'abalala abeegwanyiza entebe kkaadi ya NUP ku kya Makindye East mu Palamenti

Tuff B n'abalala abeegwanyiza entebe kkaadi ya NUP ku kya Makindye East mu Palamenti