KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abuvubuka abavuddeyo okutwala obukulembeze mu bifo eby'enjawulo okubeera abamalirivu okukola ebyo ebituufu lwebajja okugasa ensi.
Mu kukola kino, Mayiga abasabye n'okubeera obulindaala okwanganga obuli bwenguzi obujjudde buli wamu, baleme kufiira mu mbeera eyo wabula okutereeza obukulembeze bw'eggwanga.
Okwogera bino abadde asisinkanye abavubuka okuva mu Kibiina ky'ebyobufuzi ki Peoples Front For Freedom (PFF) abamukyaliddeko ku mbuga y'Obwakabaka bwa Buganda enkulu e Bulange- Mmengo emisana ga Leero n'agamba nti bwebanakola bino, ensi ejja kubaganyulwamu.
Katikkiro Mayiga ng'aliko byayogerezeganya n'abavubuka ba PFF e Bulange-Mmengo
Katikkiro Mayiga yeebazizza bano obutakoowa kukyalanga Bulange, benyigire mu mirimu gy'okuzimba Obwakabaka ate n'obutakkirizanga kintu kyonna kibaggya ku Kabaka kubanga nga tonayagala Uganda, osooka kubeera Muganda ate bweweyagala olwo lwosobola n'okwagala abantu abalala.
Ye Minisita w'Abavubuka, Emizannyo n'Ebitone mu Buganda, Ssalongo Robert Sserwanga asabye abavubuka okwezimbamu obusobozi olwo balyooke bayingirire eby'obufuzi bwatyo nnakikattirizza nti kibeera kirungi okusookanga okwenyigira mu bukulembeze ku mitendera egy'enjawulo olwo bagende mu by'obufuzi.
Minisita w'abavubuka mu Buganda, Robert Sserwanga ng'ayogera
Ng'ayogera ku lwa banne, Atwala abavubuka mu PFF, Henry Buyondo ategezezza nga bwebawagira enteekateeka z'Obwakabaka okuli Ssemasonga ey'okubiri ekwata ku kugabana obuyinza mu nkola ya Federo era neyeebaza Kabaka Mutebi II olw'okufaayo ennyo eri abavubuka okulaba nga nabo babeerako byebakola mu kuzimba Obwakabaka n'ensi yaabwe.
Bano batonedde Katikkiro Mayiga ekisiige ky'Omutima, ekika Kye, saako n'okumukwasa Ssemateeka wa PFF.
Mu nsisinkano eno era Katikkiro abadde ne Minisita w'amawulire n'okukunga abantu, Israel Kazibwe, Ssentebe w'abavubuka mu Buganda, Derrick Kavuma, omukwananganya w'Abavubuka mu Buganda, Hassan Kiyemba n'abalala.