Eddagala ly'ekifuba ne ssenyinga libuutikidde obutale

Obunkenke Covid-19 bw’atadde mu Bannayuganda  butandise okubazza ku ddagala ly'ekinnansi bbo lyebagamba nti limanyiddwa mu kujjanjaba n'okuweweeza  ekifuba ne ssenyiga.

Abantu nga batunda eddagala ly'ebikoola.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#ssenyiga

Bya Samuel Balagadde 

Obunkenke Covid-19 bw’atadde mu Bannayuganda  butandise okubazza ku ddagala ly'ekinnansi bbo lyebagamba nti limanyiddwa mu kujjanjaba n'okuweweeza  ekifuba ne ssenyiga.

Eddagala omuli ebikoola  by'amapeera, ebibajjo by'emiti gy'emiyembe n'ebirala byabuutikidde akatake ka Kabaka akabuli Lwamukaaga e Katwe.

Abantu abaagenze mu katale kano okugula emmere n'ebintu ebirala eby’awaka ebimanyiddwa mu katale kano kyababuuseeko bwe baasanze nga bya kkekwa wabula ng'emidaala egisinga gibuutikkiddwa ddagala eriweweeza n'okujjanjaba ebifuba ne ssenyiga.

Moses Bazira omu ku basuubuzi mu katale kano yategeezezza ku Lwomukaaga bino ebikoola babifumba ne babinywa ne bibayamba ku bifuba ne senyiga.

Grace Nakabuye nga naye mutunzi wa ddagala lye limu  yagambye nti baasazeewo okuguza bantu eddagala lino ery’ebikoola n’ebibajjo abo abaliguze  balyefumbire nga bategedde kiki ky ebatutte okusinga okuferebwa abatunda eriwedde okutabula mu macupa nga tosobola kumanya biki bye baatabudde.

Wabula abasawo balabudde ndi eddagala lino lya bulabe ku bulamu bw'omuntu.