Embeera ya Paapa yeeraliikirizza Eklezia

OMUTUKUVU Paapa Francis embeera y’obulamu bwe yeeraliikirizza Abakatoliki okwetooloola ensi, bwe bamuwadde ekitanda mu ddwaaliro oluvannyuma lw’okufuna okukaluubirizibwa mu kussa.

Embeera ya Paapa yeeraliikirizza Eklezia
By Lawrence Kizito
Journalists @New Vision
#Amawulire #Paapa #Mbeera #Vatican

OMUTUKUVU Ppaapa Francis embeera y’obulamu bwe yeeraliikirizza Abakatoliki okwetooloola ensi, bwe bamuwadde ekitanda mu ddwaaliro oluvannyuma lw’okufuna okukaluubirizibwa mu kussa.

Paapa Francis baamuddusa mu ddwaliro lya Gemelli Hospital e Roma ku Lwokutaano oluwedde, nga afunye ssenyiga ate nga akaalubirizibwa mu kussa, kyokka ne kirowoozebwa nti teyali wa kulwayo nnyo.

Wabula, amawulire agava e Roma gagamba nti Ppaapa obulwadde bweyongedde, era emikolo gy’abadde alina okukola mu Vatican wiiki eno gyonna ne gisazibwamu, paka bwanatereera n’akomawo ku mirimu.

Okusinziira ku mwogezi w’e Vatican Matteo Bruni, Paapa Francis nga kati wa myaka 88, abasawo abakugu abamuliko baamwekebezze, ne bazuula ng’amawuggwe ge gaafuna yinfekisoni ey’omutawaana, eyakosa ne payipu etambuza omukka ng’omuntu assa, ng’agenda kwetaaga ekiseera ekiwerako mu ddwaaliro ng’ajjanjabibwa.

Okusinziira ku mukutu gwa AFP, Paapa okulwala kyaddirira okumala wiiki bbiri ez’omuddiringanwa ng’akola nnyo era mu bbanga eryo omubiri gwe gwayongera okunafuwa.

Ensonda mu Vatican zigamba nti Paapa yateereddwa ne ku byuma ebimuyamba okussa. Mu nnaku ezaasooka nga tebannamuddusa mu ddwaaliro, Francis yagamba abakkiriza abaali mu kusaba e Vatican nti akaluubirizibwa mu kussa, era emirundi egisinga ng’asaba abayambi be okumusomera obubaka bwe.

Kyokka wadde yali mu mbeera enzibu, yagenda mu maaso n’okwetaba mu nkiiko ez’enjawulo, nga ne ku Lwokutaano lwennyini lwe baamutwala mu ddwaaliro yasooka kusisinkana Katikkiro wa Slovakia Robert Fico.

Paapa yafuna obulwadde ku mawuggwe ng’akyali muto, era ekitundu ku mawuggwe ge ne kisalibwako, ekimuteeka mu mbeera ey’okutawaanyizibwa ennyo obuwuka obusirikitu obuleeta endwadde ezeekusa ku kussa.

Okuva lwe yafuna obwa paapa mu March wa 2013, Francis azze atawaanyizibwa endwadde ez’enjawulo, era okuva 2022 yatandika okutambulira mu kagaali ate bw’aba asituka akozesa muggo okumuwanirira.