By’olina okusooka okukola ng’amatu go gafunye obuzibu

Amatu kye kimu ku bitundu by’omubiri eby’omugaso ennyo, kubanga kye kiyamba okuwuliziganya n’abalala obulamu ne busobola okugonda.

By’olina okusooka okukola ng’amatu go gafunye obuzibu
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#amatu #gafunye #obuzibu #okukola

Bya Lawrence Kizito

Amatu kye kimu ku bitundu by’omubiri eby’omugaso ennyo, kubanga kye kiyamba okuwuliziganya n’abalala obulamu ne busobola okugonda.

Wabula amatu ago galumbibwa ebintu bingi, ebigezaako okugacankalanya era embeera eno ereetera abantu okubeera ku bunkeke nga batya ebiyinza okuddirira.

Okusinziira ku mukutu gwa https://www.mayoclinic.org, ssenyiga bwe bumu ku bulwadde obutawaanya amatu, era bwayitirira osobola okutandika okuwulira ng’amatu galinga agalimu empewo oba nga galinga agaagala okuzibikira.

Okutu

Okutu

Era osobola okuwulira nga gakuluma, n’ofuna kamunguluze, oba nga tokyawulira bulungi.

Amatu go bwe gaba gatuuse ku mbeera eno, gezaako okubaako ebintu by’omira, ogezeeko  okugaaya ggaamu ataliimu sukaali. Ebintu bino biyamba okuzibukula emikutu egiyunga amatu ku nnyindo, n’otereera.

Kino bwe kigaana okukola, gezaako okusika empewo ennyingi omale osse mpolampola ng’okozesa ennyindo so si mu kamwa. Bw'owulira nga gegudde, ng’omanya nti olutalo oluwangudde.

Wabula singa bino byonna bigaana, genda mu ddwaaliro abasawo bagezeeko okukozesa enkola za ssaayansi ezisingako amaanyi, nga tonnafuna buzibu.