KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga atongozza empaka z’amaato 2024 ku mukolo ogubadde ku nnyanja ya Kabaka esangibwa e Ndeeba mu Kampala.
Mu ngeri y’emu atongozza eryato,akabonero k’empaka zino n’amateeka agagenda okukozesebwa mu mpaka ezigenda okuzannyibwa mu mitendera ebiri okutuusa olw’akamalirizo olunabeerawo nga August 24,2024 ku mwalo e Kaazi mu Kyadondo.
Bwabadde atongoza empaka zino ezigenda okuvuganyizibwa ku mutendera gw’amasaza,Mayiga agambye nti tewali muzannyo gusobola kukula nga tegulina mateeka era n’ategeeza nti omuzannyo gw’amaato mu Buganda bwegunabeera gwakusituka,gwetaaga gubeereko amateeka ate gagobererwe buli agwetabamu.
“Nneebaza enteekateeka eno olw’okussa omuzannyo gw’amaato ku mutendera gw’ensi yonna. Tewali muzannyo gukula nga tewali mateeka ate nga gwe omuntu ssekinnoomu tosobola kwessizaawo mateeka gaago kyova olaba nti mu mupiira Fifa byetugamba kwetutambulira era bwetubeera bakusitula muzannyo gw’amaato mu Buganda,gulina okutambulira ku mateeka era abagulimu,bagatambulireko,” Mayiga bwagambye.
Katikkiro Mayiga ng'awandiika ku kipande
Katikkiro Mayiga era ategeezezza ng’omuzannyo gw’amaato bweguli ogw’ennoono ddala mu Buganda n’awa eky’okulabirako nti tulina ebika bingi ebirina akakwate n’amaazi ate Bassekabaka okuli Muteesa II ne Mwanga II baayagala nnyo omuzannyo guno ng’eno y’emu ku nsonga lwaki Mwanga II yalagira okusimibwa kw’ennyanja eno okusobola okutuuka e Munyonyo.
Minisita w’abavubuka,emizannyo n’ebitone mu Buganda Ssalongo Robert Sserwanga ategeezezza nga minisitule ye bwemaliridde omwaka guno okutumbula emizannyo ginansangwa ng’oluvanyuma lw’omuzannyo gw’amaato,baakutegeka ekiggwo ekiganda,enkuyo,omweso n’emirala.
“Omuzannyo gw’amaato guno,tusuubira nti gujja kwongera okutumbula ebitone by’abavubuka. Omwaka guno era tusuubira okuteeka essira ku mizannyo ginansangwa,” Sserwanga bwagambye.
Ye Ssentebe w’olukiiko olutegeka empaka zino Ying. Ben Misagga alambuludde ebyagendereddwa okukola eryato etongole erinakozesebwa mu mpaka zino,akabonero kaazo ate n’amateeka agagenda okweyambisibwa nga baagala wabeerewo eky’enkanyi mu kuvuganya.
“Eryato lino lye lisoose mu Buganda ne Uganda. Amaato gabaddewo naye nga tegalina nkola ntongole. Abavuzi balina kubeera bataano nga kuliko omukyala ate n’akuba engoma.Omuti mwerikolebwa tugutaddeko essira nti gulina kubeera mukebo,” Ying. Misagga bwanyonyodde.
Misagga agambye nti baagenderedde okukola ekintu nga kya Buganda nga buli muntu kaabeere ng’ali Japan ng’alina kukozesa lyato lino nga kino kigenda kufuula Buganda ensi ey’enjawulo mu kukola amaato g’empaka nga bwolaba nti mu mupiira,emipiira egitongozebwa FIFA egisinga gikolebwa Pakistan era n'akowoola amakkampuni okujja mu bungi okubeegattako okusitula empaka zino ate nabo bafunemu.
Empaka zino zigenda kuzannyibwa mu mitendera esatu okuli olunabeerawo nga March 30,2024 nga lwakubeera Bunjakko mu Mawokota, olwa nga June 1,2024 olunabeera ku mwalo e Nakiwogo mu Busiro ate empaka z’akamalirizo zibeerewo nga August 24,2024 ku mwalo e Kaazi mu Kyadondo.
Apollo Habakurama nga maneja mu kkampuni esogola omwenge oguyitibwa Buganda Kombucha ategezezza ng’emizannyo bwegiri emikulu mu kusitula abavubuka bwatyo n’asuubiza nti nabob agenda kuvaayo n’amaanyi okuyamba ku Bwakabaka okubasitula.
Empaka z’amaato zaddawo mu 2015 ng’ezasembayo zaali Nnabugabo mu Buddu mu 2019 era zaawangulwa Buddu kyokka olw’omuggalo ogwaleetebwa ssenyiga kkolona neziyimirizibwamu okutuusa omwaka guno lwezigenda okukomezebwawo.