GAVUMENTI ng’eyita mu minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo ekkirizza abayizi okugenda n’ebyuma bikalimagezi ku masomero kyokka ng’abasomesa balina okusooka okubyekenneenya okukakasa nti tebirina bulabe.
Bino byogeddwa minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Kataha Museveni bw’abadde atongoza enkola enaagobwerera mu nkozesa y’ebyuma bino okuli amasimu ne kkompyuta wamu n’emitimbagano gya yintaneeti okusomesa n’okuyiga mu masomero kw’ossa amatendekero etuumiddwa National digital agenda.
Minisita Kataha Museveni Ng'aggulawo Omulimu Gw'okuzimba N'okugaziya Amatendekero G'ebyemikono .
Omukolo guno gubadde ku Hockey grounds e Lugogo. Minisita Kataha yagambye nti enkola eno egenderedde okulwanyisa obubaka obutagya mu byanjigiriza, okukuuma abayizi nga bamanya ebyo byokka ebibayamba (cyber insecurity) n’okubatangira okugyeyambisa mu ngeri emenya amateeka oba okubonoona mu nneeyisa.
Emyaka egiyise okusomesa kubadde kwa mu kibiina naye ekirwadde kya ssenyiga omukambwe owa Covid 19 bwe kyajja, okusoma kwatandika okutambulira ku mitimbagano naddala mu kiseera ky’omuggalo wadde ng’eggwanga lyali teryeteeseteese.
Minisitule y'eby'enjigiriza kwe kutandiika okubaga enkola enaagobererwa mu kusoma n’okusomesa okuyita ku mitimbagano nga baatandika okugibaga mu 2020.
Mukyala Museveni asabye abazadde obuteesuulirayo gwa nnaggamba nabo bakole omulimu gwabwe ogw’okulambika n’okulondoola engeri abaana gye bakozesaamu ebyuma bino nga bali awaka nga nabo baakuteerwawo emisomo ku ngeri y’okukuza abaana wakati mu mbeera ya tekinologiya.
Akulira ekitongole kya UNICEF mu Uganda, Munir Safieldin asabye gavumenti obutakoma ku kutongoza nkola eno wabula ebiteeke mu nkola wamu n’okussaawo ebikozesebwa omuli kkompyuta, yitaneeti, wamu n’okutendeka abasomesa abanaayambako abayizi okusoma.