NNAABAGEREKA Sylivia Nagginda atongozza kaweefube w'okulwanyisa obulwadde bw'omutwe obucaaase ennyo mu Bannayuganda.
Omukolo gw'okutongoza kaweefube ono gubadde Bulange-Mmengo n'asaba buli omu amwenyigiremu mu ngeri yonna esoboka okusobozesa abo abatawanyizibwa ebirowoozo,okwenyika mu meeme n’ebirala.
“Tusaanye ffenna okwewaayo okulwanirira obulwadde bw’omutwe. Tusaanye okweyama okubeera ekitangaala ekiwa essuubi eri abo abatawanyizibwa obulwadde buno,” Nnaabagereka bwasabye Bannayuganda.
Kaweefube ono agenda kutambuzibwa wansi w’omulamwa ogugamba nti “ Koleeza ekitangaala. Tulwanyise obulwadde bw’omutwe”.
Nnaabagereka Nagginda n'abagenyi be Dr. Yonas Woldemariam ne Nnyombi Thembo ku ddyo
Minisita w’enkulakulana y’abantu era avunanyizibwa ku ofiisi ya Nnaabagereka,Cotlida Nakate Kikomeko yebazizza Nnaabagereka olw’okuvaayo okulaga Bannayuganda ekkubo ku ngeri gyebalina okunogeramu ekizibu kino,eddagala.
Ye Ssentebe w’olukiiko olufuga ekitongole ki Nnaabagereka Fund, Susan Busuulwa Lubega ategezezza nga Nnaabagereka bweyafuna abantu bangi naddala mu kiseera ky’omuggalo gw’obulwadde bwa ssenyiga kolona nga basomoozebwa obulwadde buno.
Mukyala Lubega era etegezezza nti mu kitundu ekisooka eky’enteekateeka eno ekitandika mu mwezi ogw’okutaano,bagenda kukola kaweefube ow’okumanyisa ensi ku bulwadde buno nga bakolagana n’ekitongole ky’ensi yonna eky’ebyobulamu wamu n’ekitongole ekivunanyizibwa ku by’empuliziganya mu Uganda ki UCC okukunga abantu.
“Kaweefubew a Nnaabagereka ono agendererwamu okulaba ng’asuula omukono eri abo bonna abatawanyizibwa obulwadde,baleme kukwatibwa nsonyi nga banoonya obujjanjabi,”Susan Lubega bwagambye.
Akulira ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna wano mu Uganda, Dr. Yonas Tegegn Woldemariam agambye nti ekizibu kino babadde tebakitaddeko nnyo ssira naye oluvanyuma lw’okutuukirirwa Nnaabagereka,basazeewo okuvaayo mu maanyi okukwatira awamu okulaba ng’obulimi buno bugwaawo.
Dr. Woldemariam ategezezza nga ku bukadde 50 obwa Bannayuganda,obukadde 14 bayita mu mbeera y’okutawanyizibwa mu mutwe era n’alaga nga bwewaliwo obwetaavu bw’abakugu mu Uganda naddala mu bitundu ebisangibwa mu byalo.
Nnaabagereka Nagginda mu kifananyi ne Dr. Yonas Woldemariam (ow'okubiri okuva ku kkono)
Ate George William Nnyombi Thembo nga y’akulira Uganda Communications Commission ategezezza nga bavuddeyo okukwatira awamu ne Nnaabagereka kubanga bakimanyi nti ebintu bingi naddala ebikwata ku bulamu byakuteeko nebatambula era bigasizza nnyo eggwanga.
Nga May 9,2024 Nnaabagereka lwategese ekijjulo ekiyitibwa Queen’s Ball nga muno mwe Mugenda okusonderwa ensimbi ezinayamba okuddukirirwa abatawanyizibwa obulwadde bw’omutwe nga kyakubeera ku Sheraton Hotel mu Kampala.
Ebitongole ebirala ebivuddeyo okukolagana ne Nnaabagereka mu nsonga eno kuliko Airtel Uganda ng’ekikkiriddwa Ali Balunywa atwala bakitunzi, I & M Bank ekikkiriddwa Robin Bairstow akulira emirimu ate ne Sam Ntulume avunanyizibw aku ntambuza y’emirimu