Aba Movit badduukiridde essomero lya Gavumenti e Lwengo

ESSOMERO lya Gavumenti erya Lyakibiriizi Cope eribadde likaabya abantu amaziga kyadaaki aba kampuni ya Movit balidduukiridde n'ekizimbe kya bisenge bisatu nga kya kumalawo obuakadde 60.

Ekimu ku bibiina abaana mwebasomera Lwengo
By Florence Tumupende
Journalists @New Vision

ESSOMERO lya Gavumenti erya Lyakibiriizi Cope eribadde likaabya abantu amaziga kyadaaki aba kampuni ya Movit balidduukiridde n'ekizimbe kya bisenge bisatu nga kya kumalawo obuakadde 60.
      Kino kidiridde ssentebe wa disitulikiti okubunyisa ebifaananyi by'essomero lino ku mitimbagano ne kumikutu gy'amawulire ng'alajjanira abazirakisa okuvaayo babakwasizeeko.
      Bwotuuka ku ssomero lino oyinza okugamba kigango ky Nte olw'endabika yakazimbe gyebakazimbamu omuli okusimba emiti ne basibako ebitundubaali n'olukono ng'enkuba n'omusana kwossa empewo bigweera ku bayizi.

Abantu nga bali mu kibiina mwebasomera

Abantu nga bali mu kibiina mwebasomera


     Kino kyagatibwaako essomero lino obutaba na ntebe zimala ng'abayizi batuula wansi mu nfuufu ekivudeko n'abamu okukwatibwa envuunza ne ssenyiga.
    Ekisinga okubobbya abantu kye kibiina kimu okusomeramu ebibiina bina ng'omusomesa omwomu yasooka okusomesa n'omulala n'asomesa abayizi abalala.
     Aba Movit nga bakulembeddwamu Ssaalongo Sympson Birungi bagambye nti bwebaalaba amawulire gano baasalawo baddize ku bantu baabwe nga babasangula amaziga.
    Ono abawadde n'entebe 90 kwossa bbasale ssatu eri abo abatalina mwasirizi.
Ssentebe Kitatta yagambye nti wadde nga bafunye ekizimbe kino era essomero lino lisigadde likyalina ebizibu by'ebizimbe ne basaba abazira kisa abalala okuvaayo bongere okubaduukirira.