OMUMYUKA wa katikkiro wa Uganda asooka Rebecca Kadaga ategeezezza nti gavumenti egenda kuwa nnakinku w’okuwandiika ennyimba Paul Ssaaka omuddaali gw’abazira ng’emusiima okussa ettofaali ku nkulakulana y’egganga ng’ayita mu nnyimba z’awandiika n’okuzitendeka.
Kadaga bino abyogedde bweyabadde omugenyi omukulu ku kivvulu kya Paul Ssaaka ekyatumiddwa Ssaaka @33 ekyabaddewo ku Ssande ku Serena Hotel mu Kampala.
Rema Namakula ng'ayogera mu kivvulu kya Paul Ssaaka
Ekivvulu kino kyetabiddwako abaana b’amasomera ntoko okuli ago Ssaaka geyali atendeseko ennyimba ko n’okugawandiikirako wamu naago gaakyalimu.
Kibadde ki’ejjobyo kyennyini anti amasomero gaayolesezza eryanyi nga bayimbira masita waabwe ennyimba era obwedda buli ssomero liggyayo akakoddyo okulaga nti lye lisinga.
Abayimbi abamaanyi abaayitako mu mikono gya Ssaaka nabo tebaalutumidde mwana okwabadde Rema Namakula ku St. Balikudembe Kisoga ng’ono yeesaze yunifoomu ne yeetaba wamu ne banne ku ssomero eryo ne bayimbira masita waabwe n’abagenyi.
Abalala kwabaddeko Pasita Wilson Bugemb, Flona, Betina Namukasa, Stella Kayaga, Flavia Nansamba, Flash Love, Mey Ruth, aba Zubair Famire n’abalala.
Omusumba Aloysius Bugingo omu ku mikwano gya Paul Ssaaka yamusiimye olw’okukwata ku bavubuka ng’ayita mu kitone ky’enyimba n’amwebaza okwagala katonda.
Abalala abasiimye Ssaaka be bawandiisi b’ennyimba mu ggwanga era bano nga bakulembeddwamu pulezidenti waabwe John K baamukwasijja eginja ery’omuntu akoledde ennyo ekisaawe kya myuziki.
Ssanyu Robinah Mweruka ne bba Pascal Mweruka nga bali mu kivvulu kya Paul Saaka
Abayizi abakulu n’abato bonna baayimbidde abantu enyimba ezabaccamudde okwabadde Mubazadde abaana, Omulembe Omutebi, Lukeberwa, Mu nsi eno okozemu ki ne ndala.
Ku luyimba lwa Nkwagala Uganda yange kyasusse anti abayizi baaleese ebintu ebiraga Uganda ekkula okwabadde n’abasitudde Engamiya ne bagiyingiza Serena okulaga Uganda bweri e kkula.
Ssaaka yeyabadde omusanyufu yagambye nti omukwano abantu gwe baamulaze tayinza kugugerageranya ku kintu kyonna kubanga bangi balinda bantu kufa ne babalaga omukwano nga baambala essaati okuli ebifananyi byabwe wabula ye baakimukoledde mulamu