Nnaabagereka anyumya lwe yali akutudde Kabaka omutima

MU kitabo kya The Nnaabagereka ekyogera ku ebyo nnaabagereka Sylvia Naggindabwayiseemu akyogera ku mbaga lwe yagattibwa ne Kabaka Mutebi II.EMBAGA Embaga yaliwo ku Lwakutaano nga August, 27 , wabula Nnaabagereka anyumya nti yali teyeebase bulungi ate nga mukoowu ddala.

Maama Nnaabagereka
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

MU kitabo kya The Nnaabagereka ekyogera ku ebyo nnaabagereka Sylvia Nagginda
bwayiseemu akyogera ku mbaga lwe yagattibwa ne Kabaka Mutebi II.
EMBAGA Embaga yaliwo ku Lwakutaano nga August, 27 , wabula Nnaabagereka anyumya nti yali teyeebase bulungi ate nga mukoowu ddala.
“Okwewala abantu okunkubira essimu nga banjagaliza olunaku olulungi nnasalawo
essimu ne ngiggyako. Neesibira mu kisenge waggulu gye bankolerako, olwo emperekeze zange na babakolerako wansi.
Wabula baba bakyankolako, ng’enda okuwulira nga waliwo ddoboozi ly’ekisajja lye mpulira, bwe baggulawo nga Wasswa Birigwa, eyali avunaanyizibwa ku by’obudde ng’atunonye.
Wano we ndabira nti obudde buyise. Twali tukkiriziganyizza ne Ssaabasajja nti tujja kusooka kusisinkana nga tetunnagenda mu Lutikko e Namirembe, wabula tekyasoboka, kubanga nnali nzigyeko essimu nga tasobola kunfuna. Nnatandika okwevuma okulwisa Ssaabasajja n’abagenyi abalala omwali ne Pulezidenti w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni.
Jjukira emikolo gyali giragibwa butereevu ku ttivvi era tuba tetunnasimbula mu kisenge mwe nnali mwalimu ttivvi nga ndaba buli ekigenda mu maaso. Oluvannyuma bang’amba nti abantu baali batandise okulowooza nti osanga nneekubye, era n’okutuusa leero nneevuma ekyandwisa.
Olwalinnya mmotoka zaatuvuga okutuuka e Namirembe. Bwe nnafuluma kwe kujjukira
nti ebbaasa Ssaabasajja gye yampa nga yaakuwaayo mu kkanisa nnali ngyerabidde.
Wano we nagambira nti ekirungi empeta Ssaabasajj ye yali azirina kubanga singa nze nnali nazo osanga nazo nnandizeerabidde. Olwatuuka, taata yambuuza kimu nti; mubadde wa? Wabula namuddamu kimu nti; nnyimirira ku mukono ki.
OKUGATTIBWA
Mu butuufu, ebyagenda mu maaso mu kkanisa nzijukira bitono, era eyabuulira, omugenzi Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo bye yatubuulirira saabiwulira. Wabula oluvannyuma ng’embaga ewedde bwe nnalaba vidiyo kwe kukakasa nti ddala yali mbaga mawuuno.
Oluvannyuma lw’okugattibwa, abagenyi abaasukka mu kakadde kalamba baagabulwa mu Lubiri e Mmengo. Ekimu ku byamuluma ku mukolo ogwali mu Lubiri kye kimuli kye okumubulako n’okutuusa leero tamanyi yakitwala.
Agamba nti, essaawa y’okusala kkeeki n’okugigabula bwe yatuuka, ekimuli n’akireka
ku mmeeza, wabula yagenda okudda nga takiraba era teyamanya yakitwala.
Olwava ku ‘reception’ baasibira Kireka, embaga yaabwe tebaafuna bifaananyi bya
situdiyo era bino baabyekubya oluvannyuma lwa wiiki. Baalina okuddamu okwambala nga bwe baali ku mbaga ne beekubya ebifaananyi ebyo.
Ku Hane muunu (Honey moon ekiseera abagole kye bamala mu kisenge oba mu
kafo akeekusifu nga teri abakuba ku mukono) baagendayo oluvannyuma lw’emyezi ena era nga baagikwatira Nairobi ne Mombasa mu Kenya. Nga tebannagenda mu ‘honey moon’ baasooka kukola omukolo gw’okuzza omuzigo. Bingi ebiri mu kitabo kino, ekya The Nnaabagereka nga kigenda kutongozebwa March 23, 2023