Ebbugumu ly'eyongedde mu mpaka z'obwannalulungi bw'obulambuzi mu Buganda

FAYINOLO y’empaka z’Obwannalulungi w’ebyobulambuzi mu Buganda eyengeddemu ebbugumu ng’empaka zino buli lukya zongera okunyumira abantu oly'ebyobuwangwa.

Nnalulungi
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

FAYINOLO y’empaka z’Obwannalulungi w’ebyobulambuzi mu Buganda eyengeddemu ebbugumu ng’empaka zino buli lukya zongera okunyumira abantu oly'ebyobuwangwa.

Empaka za nnalulungi

Empaka za nnalulungi

Werutukidde olwaleero ng’abawala abaatandiika 54 kati basigadde 38 nga bano bebagenda okutunkira engule y’Obwannalulungi nga June 13,2025 ku Hotel Africana mu Kampala.

Akulira emirimu mu kitongole ky’Obwakabaka ekivunanyizibwa ku by’obulambuzi, Najib Nsubuga yasinzidde ku mukolo abawala bano kwebayolesezza ebitone n’ennyambala ey’enjawulo, mu kiro ky’eggulo, neeyebaza abazadde olw’okuwagira abaana baabwe mu nteekateeka eno.

Empaka za nnalulungi

Empaka za nnalulungi

Ye Ssentebe w’abavubuka mu Buganda omuggya, Derrick Kavuma asinzidde ku mukolo guno ogubadde ku kitebe ky’ebyobulambuzi e Mmengo n’akuutira abavubuka okwewala okukozesa ebiragalalagala kubanga tebasobola kufuna mikisa nga gino egy’okwetaba mu mpaka nga zino.

Abawala booleseza enjogera mu bantu,ebyobulambuzi mu bitundu byaabwe ate n’enyambala enjiiye.

Empaka za nnalulungi

Empaka za nnalulungi

Empaka zino zitambulira wansi w’Omulamwa ogugamba nti “ Nze buwangwa bwange’ era obubonero abawala bano bwebaafunye,bugenda kugattibwa kwoobwo bwebanafuna ku mpaka z'akamalirizo nga June 13,2025.