MINISITA omubeezi ow’ebyettaka Dr. Sam Mayanja annyonnyodde ku nkola y’ebyettaka eya Liizi, ebika byazo n’amateeka ga Uganda bwe gagamba ku Liizi.
Bino Mayanja yabyogeredde ku pulogulaamu ‘Mugobansonga Special’ ebeera ku Bukedde Fa Ma buli Ssande, okuva ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi okutuusa ku 2:30 ez’ekiro. Yakyaziddwa TERAH KAAYA, ate bye yayogedde biwandiikiddwa WILSON W. SSEMMANDA: EKIBUUZO: Abantu bangi bazze beemulugunya ku bbaluwa gye wawandiika ku by’ettaka ly’Olubiri lwa Kabaka e Banda, tangaaza ku MINISITA MAYANJA: Kaakati, eby’ettaka eryo okuba Olubiri, oba ettaka ly’Olubiri, nze sibimanyi mu mateeka.
Nze kye mmanyi nti waliwo abaana abajja mu ofiisi yange nga balina ensonga ku ttaka ery’e Banda eriri mu mannya ga Ronald Muwenda Mutebi. Ate kye nnazudde, kirabika kijja kunneetaagisa okugenda ku ttaka lino ndirambule nditegeere bulungi.
Kubanga waliwo eriri mu mannya ga Kabaka Mutebi erya Plot 2, n’eddala eririko kalumanywera. Ka nkitunulemu ndabe, oba kinanneetaagisa okuyingira Olubiri olwo ntereeze ensonga zaayo.
Sigenda kufaayo oba waliwo akalombolombo oba tewali, nze nja kutunuulira ssemateeka wa Uganda, nga bwe kiba ng’andagira nti nga minisita wa Gavumenti ekulemberwa Genero Museveni, nnina obuyinza okugenda e Banda ne ntereeza emivuyo ku ttaka, nja kugendayo.
Ggwe n’ova eri n’akalombolombo akahhaana, nja kukuyitako buyisi hhende ntereeze ensonga. Kaakati, waliwo ennyumba eyazimbibwa ku ttaka eryo. Bye nnaakamanyaako, Plot 2 lye ttaka ettongole jjajja wa Mutebi, Kisosonkole lye yamuwa. Naye Plot 1, bano abeemulugunya bagamba nti jjajjaabwe yaligula ku Kisosonkole. Balina n’amannya g’abajulizi abaaliwo ng’aligula omuli n’ery’eyali Ssaabalangira Mulondo n’abalala ag’abanene.
Kijja kitya ewange? Ssebo nange ewange nninayo ka kkooti. Kkooti eyo ekulirwa kamisona wa ‘Land Registration’, ng’eteekebwawo ennyingo ya ssemateeka eya 81.
Nga waliwo ebintu ebirina okutereezebwa amangu awatali kuwanvuya nsonga.
Ensonga ng’eyo ogissa mu maaso ga kamisona n’omunnyonnyola n’agitunulamu n’enogerwa eddagala awatali na kugenda mu kkooti zino eza bulijjo. Era ennyingo eyo egamba nti kamisona alina obuyinza okukyusa, okutereeza oba okusazaamu ekyapa nga tagenze na mu kkooti.
Kaakati, bino we byajjira ewange, nga ndaba ne Ronald Mutebi ng’ayogedde, ng’agamba nti amaze emyaka 25 ng’anoonya bannannyini wo nga tabalaba. Nze kye hhamba nti bano bonna Bannayuganda, amazima galina okuzuulwa nnannyini kintu y’aba akisigaza.
Kabaka Mutebi agamba nti alina Special Title gye yafuna oluvannyuma, ate abazzukulu bano bagamba nti bo balina ekyapa jjajjaabwe kwe yagulira ekyamuweebwa Kisosonkole.
Kale nno abantu bano bali babiri abalina enkaayana, ate bonn Bannayuganda, Ssemateeka b’awa eddembe eryenkanankana, kale tulina okutuuka ku mazima, abadde anyigirizibwa afune obwenkanya. Kale nze nga Mayanja, nnawandiikidde kamisona nti nze kye ndaba abaana bano be batuufu, naye ye akozese obuyinza bwe nga kamisona awulirize enjuyi zombi, oluvannyuma asalewo ekyo ky’alaba nga kye kituufu. Naye nze ndowooza nti kino bandibadde baakitereeza na dda, ne bitatuuka awo. Abaganda
abatuufu bwe baakolanga. Kyokka ekyanneewuunyisizza nti eyeeyita Attorny General wa Buganda yavuddeyo n’agamba nti Mayanja atuggyeko akanyoomonyoomo n’ebirala, ne nneebuuza oba munnamateeka omutuufu! Naye bino ebizze byogerwa mbu simanyi Mayanja asaanyaawo Olubiri, bamala biseera