Ensobi abantu zebakola mu kwebaka eziyinza okukosa obulamu bwabwe

OKWEBAKA kiseera kya kuwummuza mubiri n’ogenda okuzuukuka ng’owulira bulungi era n’osobola okukola emirimu gyo n’okulowooza obulungi.Wabula abantu abamu bwe beebaka ate bagenda okuzuukuka nga baggyeemu ndwadde ze beeretera olw’engeri gye beebakamu.Mu kiseera ng’omuntu yeebase, obwongo bwe bubeera bukola nnyo kyokka ate omubiri gwe gubeera guwummudde era kino kiyamba omubiri okuwummulamu ate era ne gufuna amaanyi okusobola okukola mu lunaku oluba luddako oba mu budde obubeera buddako.

Omukyala nga yeebase
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OKWEBAKA kiseera kya kuwummuza mubiri n’ogenda okuzuukuka ng’owulira bulungi era n’osobola okukola emirimu gyo n’okulowooza obulungi.
Wabula abantu abamu bwe beebaka ate bagenda okuzuukuka nga baggyeemu ndwadde ze beeretera olw’engeri gye beebakamu.
Mu kiseera ng’omuntu yeebase, obwongo bwe bubeera bukola nnyo kyokka ate omubiri gwe gubeera guwummudde era kino kiyamba omubiri okuwummulamu ate era ne gufuna amaanyi okusobola okukola mu lunaku oluba luddako oba mu budde obubeera buddako.
OMUNTU OMULAMU ALINA KWEBAKIRA SSAAWA MMEKA?
Dr Emmanuel Katende, ow’eddwaaliro lya St. Thereza Kireka- Bbira, agamba nti, okwebaka kwa mugaso eri buli muntu yenna era buno bwe budde abantu bwe balina okwebakiramu okusinziira ku myaka gyabwe.
Omwana omuto wakati w’emyaka esatu n’emyaka etaano alina okwebakira wakati w’essaawa 10 ne 13 mu ssaawa 24.
Abaana abali wakati w’emyaka 6 ne 12 balina okwebakira wakati w’essaawa 9 n’essaawa 12 mu ssaawa 24.
Abavubuka abali mu myaka 13 ne 18 balina okwebakira wakati w’essaawa 8 n’essaawa 10 mu ssaawa 24.
Ate omuntu omukulu alina okwebakira essaawa wakati wa 7 n’essaawa 9 ku ssaawa 24 ez’olunaku. Omuntu yenna eyeebaka okusukka essaawa zino abeera alina ekimutawaanya ku mubiri gwe era omuntu yenna bwe yeebakira essaawa entono naddala omuntu ne yeebakira essaawa nnya zokka
3. Ofuna obulumi mu magulu.
4. Abamu bafuna okulogootana kubanga obwongo bwabwe bubeera tebuteredde bulungi.
5. Abamu baloota nga batambula ekiro omuntu n’asituka mu buliri n’atandika okutambula naye nga yeebase. 

Dr Emmanuel Katende

Dr Emmanuel Katende


OMUNTU ALINA KWEBAKIRA KU LUDDA KI?
Dr Emmanuel Katende, agamba nti, okwebaka kwa mirundi mingi nga mulimu okwebakira ku ludda lwa kkono, oludda olwa ddyo n’okwebaka eky’obugazi wabula okwebaka eky’obugazi kwe kusinga okubeera okulungi eri obulamu bw’omuntu.
tawummula kimala era n’obwongo bwe bukosebwa.
OMUGASO GW’OKWEBAKA
l Okwebaka kuyamba obwongo bw’omwana n’abantu abakulu okukula, okukola ssaako omubiri okukula obulungi.
l Omwana atafuna bulungi tulo teyeeyisa bulungi.
l Omwana takwata mangu kuba obwongo bwe bubeera bukola mpola, abeera aliira kumukumu n’afuna omugejjo ekitali kirungi.
l Obwongo bubeera bulowooza mangu, osalawo mangu n’obwegendereza era obeera n’amaanyi okukola emirimu egy’enjawulo.
l Okwebaka kuyamba omubiri okufuna amaanyi agalwanyisa endwadde n’amagumba okukula obulungi.
OBUZIBU BW’OBUTEEBAKA KIMALA
Omuntu ateebaka bulungi afuna obuzibu obw’enjawulo omuli:
1 . Otandika okubulwa otulo mu budde bw’ekiro olw’okuba omubiri gwo oba wagumanyiiza obuteebakira mu budde.
2. Ofuna obutassa bulungi nga weebase.
OKWEBAKA EKY’OBUGAZI
Omuntu bwe yeebaka eky’obugazi ng’omugongo gwatadde wansi kiyamba enkizi n’amagumba ag’omu bisambi n’amaviivi okubeera mu mbeera ennungi nga tegatawaanyiziba nga weebase.
Okwebaka eky’obugazi kiyamba omubiri gw’omuntu okukola akasusu akalungi, tafuna mbalabe kubanga olususu luba lussa bulungi.
OKWEBAKIRA KU KKONO
Okwebakira ku ludda olwa kkono kiggulawo obutuli omuyita empewo era kikuyamba okussa obulungi. Kino kirungi eri abantu abafuna obuzibu mu kussa.
OKWEBAKIRA KU DDYO
Okwebakira ku ddyo nakyo kiyamba omuntu okuwummula obulungi.
OKWEVUUNIKA
Kikyamu omuntu okwebaka nga yeevuunise kuba kizibikira amawuggwe n’abeera nga tasobola kussa bulungi.
OKWEZIZIKA NGA WEEBASE KIRUNGI
Abantu bakubirizibwa okwebaka nga batadde omutwe ku katto okuyamba ensingo yo okukkakkana naddala ng’olumwa ensingo oba omugongo, wabula okwebaka ng’owulira oteredde bulungi mu buliri kye kisinga obulungi.
Omuntu asobola okulumwa ensingo n’omugongo singa teyeebaka ku katto, wabula nabwo bulimu ebika nga obumu bulumya ensingo.
l Weewale okwebaka nga otaddeko leediyo kubanga kivaako obulwadde obukosa obwongo olw’ebireekaana n’omubiri obutawummula bulungi kufuna maanyi.
l Tolaba ttivvi naddala nga kuliko ebintu ebitiisa nga onootera okwebaka kubanga ebyo bisigala mu bwongo ne butawummula kimala.
l Teweemanyiiza kumira ddagala ng’ogenda kwebaka.
Wadde ng’okumira empeke ezireeta otulo kuyamba abatalina tulo kwebaka, wabula tozeemanyiiza kuba omubiri n’obwongo bwe buzimanyiira bugaana okuddamu okuwummula nga tosoose kuzimira.
GENDERERA EMMERE GY’OLYA NGA OGENDA OKWEBAKA
l Weewale okulya emmere etuula mu lubuto okugeza lumonde, amayuuni, amatooke, wabula osobola okulya emmere ennyangu oba n’onywa amata. Kino kiyamba ebyenda okusalaasala emmere gy’olidde n’omubiri okuwummula n’okukozesa ebiriisa ebiba bigivuddemu.
l Lya nga wabulayo essaawa nga ssatu nga tonneebaka emmere esobole okukozesebwa mu mubiri.
l Omuntu alina okwewala okunywa omwenge ng’agenda okwebaka kuba si mulungi eri omubiri n’obwongo bw’omuntu.
l Okulya emmere ennyingi ng’ogenda kwebaka kivaako omuntu okufuna omugejjo, endwadde zomutima n’eddwadde ya sukaali