Wayipa gyekebejje obutayonoona ndabirwamu

WAYIPA y’emmotoka kabeera kuuma nga omugaso gwako gwa kusiimuula na kulongoosa ndabirwamu ya mmotoka okukakasa nti tebeerako kintu kyonna kiyinza kutataaganya mugoba ng’avuga.

Wayipa gyekebejje obutayonoona ndabirwamu
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision
#Amawulire #Musasi

WAYIPA y’emmotoka kabeera kuuma nga omugaso gwako gwa kusiimuula na kulongoosa ndabirwamu ya mmotoka okukakasa nti tebeerako kintu kyonna kiyinza kutataaganya mugoba ng’avuga.

Wayipa z'emmotoka ziba zirina okukyusibwa

Wayipa z'emmotoka ziba zirina okukyusibwa

Abas Nsubuga, makanika ku SG Garage e Luzira agamba nti wayipa za mugaso nnyo naddala mu biseera ng'enkuba etonnya, nga waliyo olufu ne mu nfuufu nga ssinga omuntu avuga nga tagirina abeera asobola okukola akabenje.

Wiper Blade zino zikyusibwa oluvannyuma lw’akabanga kubanga buli gy’ekoma okusiimuula gy’ekoma n’okuggweerera nga ssinga eggwaako n’otogikyusa eyonoona endabirwamu y’emmotoka nga egikulubula.

Abagoba b’ebidduka balina okufuba okulaba nga balabirira Wayipa zino nga tebazirinda kuggweerako ddala era bazeekebejje nga bwebakola ku bitundu by’emmotoka ebirala byonna nga tebannaba kusimbula.