Engeri gye weetegekeramu akatale ng'atondika okulunda enkoko

NG’OTEEKATEEKA okutandika bizinensi y’okulunda enkoko kyandibadde kya magezi okumanya n’okutegeera akatale k’ogenda okutundamu.

Engeri gye weetegekeramu akatale ng'atondika okulunda enkoko
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Mboozi #Katale #Kulunda #Nkoko

NG’OTEEKATEEKA okutandika bizinensi y’okulunda enkoko kyandibadde kya magezi okumanya n’okutegeera akatale k’ogenda okutundamu.

Weetaaga okubeera n’enteekateeka ennuhhamu ku ngeri gy’ogenda okutuukiriza omutindo akatale gwe keetaaga, obungi obwetaagisa ate mu budde, entambula, engeri gy’onotundamu, w’osangibwa, enkwata ya ssente n’ebirala.

Obuteeteekateeka nga tonnatandika kulunda kimu ku biremesa abayingira bizinensi y’okulunda enkoko okukola amagoba kuba ogenda okutuuka ku katale nga bye kaagala ne by’olina bya njawulo, engeri gye babyagalamu, obudde n’ebirala.

Alunda enkoko z'ennyama manya akatale ko

Alunda enkoko z'ennyama manya akatale ko

l OKUMANYA AKATALE : Okutandika bizinensi y’enkoko nga tosoose kutegeera katale k’oyagala kuguza kye kaagala ogenda kukola ensobi omalirize ng’ofiiriziddwa. Okugeza bw’obeera mu nkoko z’ennyama, singa ogenda mu katale nga kasinga kugula bisambi ate nga ggwe walinda zirina nnyama mu kifuba, kitegeeza togenda kufuna baguzi. Obumu ku butale bw’oyinza okutundamu ebiva mu nkoko kukiko ebirabo by’emmere, abookya enkoko, wooteeri n’abalala.

l ZIMBA ERINNYA LYA BIZINENSI : Zimba erinnya lya kkampuni nga lya maanyi abantu lye basobola okukkiririzaamu n’okutambula nalyo. Mu nkola eno fuba okulaba nga by’okola byonna bibeera bya mutindo ekiseera kyonna.

l W’OTUNDIRA : W’otundira nawo wakulu. Funa ekifo bakasitoma we basobola okukutuukirako amangu kuba abantu banguyirwa okugula ku muntu abali okumpi ate ne mu kifo ekiri okumpi nabo, awayonjo. Mu ngeri y’emu wandibadde weewala okutundira ku ffaamu, nga kino kikuyamba okwetangira obulwadde abantu bwe batambuza, ebidduka ate n’okunyweeza eby’okwerinda kuba mu bajja okugula mwe mujjira n’ababbi.
Obutatundira ku ffaamu era kikuyamba okutangira obubbi mu bakozi, kuba buli kifuluma kirina okuba nga kimanyiddwa. Ensangi zino abantu naddala abalina ssente baagala bizinensi ezirina enkola y’okubatuusaako ebyamaguzi mu maka gaabwe nga kikwetaagisa okulowooza ku ngeri gy’osobola okutuusa ku bakasitoma ebintu by’ogamba ng’okozesa bodaboda oba mmotoka okubituusa ku b’amaduuka.

l OKUGATTA OMUWENDO :
Alunda enkoko ez’ennyama wandirowoozezza ku kuzisala n’okusiba obulungi nga kigenda kukuyamba okwongera ennyingiza ya ffaamu yo. Okugeza enkoko ya kkiro emu n’ekitundu gye wanditunze ku 12,000/- nga nnamu, singa ogisala ogenda kugiggyamu 22,500/- kuba kkiro etundiba 15,000/-. Mu ngeri y’emu n’amagi osobola okugafunira ttule obutono obw’omulembe n’ogasibamu ne kyanguyiza kasitoma okugatambuza nga tegayatise.

l OKUNOONYEREZA KU KATALE : Kikulu okumanya ebikwata ku katale ekiseera kyonna nga kino kikuyamba obutatunda bbeeyi eri waggulu kwegobako bakasitoma oba okutunda eri wansi ennyo ekigenda okukufiiriza ssente.
Mu ngeri y’emu tolinda nkoko kusooka kukula olwo onoonye akatale kuba wano abaguzi bagenda kukudondola nga balaba tokyalina kya kukola anti buli lunaku oluyitawo zirya magoba.

l OKWETUNDA : Kikulu ekiseera kyonna okwekuumira mu birowoozo bya bakasitoma bo. Wano beera n’enteekateeka y’okwetunda mu ngeri y’okweranga eri abantu abasobola okugula ebintu byo. Obuteeranga kigenda kukufiiriza, wayinza okubaawo abantu abaagala okugula ebyo by’otunda ne bagenda kuba nga tebamanyi nti, obirina, bamalirize nga baguze ku balala abeeranga ate ng’oba oli awo ggwe abali okumpi ggwe bandiguzeeko.
Wano osobola okukozesa okulanga n’emikutu gy’amawulire, okweyogerako mu nkuhhaana ng’okusaba, okukozesa emikutu gya yintaneeti nga Facebook, WhatsApp, Tiktok, Instagram n’emirala.