Genderera woyiro gw’ossa mu mmotoka obutagyonoona

Ssinga emmotoka ogissaamu woyiro atali mutuufu ekyusa entokota oluusi n’okufulumya olukkakka emabega. 

Genderera woyiro gw’ossa mu mmotoka obutagyonoona
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Emboozi #Woyiro #Mmotoka #Obutagyonoona

OBULAMU bwa yingini buwulikika mu ntokota yaayo. 

Ssinga emmotoka ogissaamu woyiro atali mutuufu ekyusa entokota oluusi n’okufulumya olukkakka emabega. 

Simon Bukenya, nga mukugu mu kusiba yingini za mmotoka e Katwe agamba nti, buli yingini erina ekika n’obuzito bwa woyiro obugendamu.

“Wadde nga woyiro gw’ogenda okuteeka mu yingini wa mutindo gwa waggulu wabula ng’obuzito oba obukwafu tebukwatana na kika kya mmotoka mw’omussa kiba kittattana yingini,” Byenkya bwe yagambye.

Agamba nti, kyandibadde kya magezi nnannyini mmotoka okwenyigira obutereevu mu kukola ssaaviisi kuba obuzibu bwonna obuyinza okubaawo naddala mu kugula woyiro atali ku mutindo oba engeri endala buddira ye
kennyini.