Kw’olabira olukoba lwa faani oluliko obuzibu

OLUKOBA lwa ffaani oba kye kimu ku bintu omuvuzi w’emmotoka by’atasaanye kubuusa maaso naddala nga lufunye obuzibu oba nga lukutuse. 

Kw’olabira olukoba lwa faani oluliko obuzibu
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#mmotoka #Ffaani #Kuvuga

OLUKOBA lwa ffaani oba kye kimu ku bintu omuvuzi w’emmotoka by’atasaanye kubuusa maaso naddala nga lufunye obuzibu oba nga lukutuse. 

Omukugu Umar Jjemba okuva e Bwaise aliko by’annyonnyola ku mugaso gwa ‘Fan belt’ ku mmotoka: Lwe lusobozesa ffaani okukuba empewo ku yingini emmotoka n’erema okucamuka oba okubuguma.

 

KW’OLABIRA OLUKOBA OLUNAFUYE
l Siteeringi y’emmotoka etandika okukaluba naddala bw’oba ogiweta.

l Bwe luba lukaddiye, lutandika okuwunya ng’olupiira olwokye.

l Emmotoka etandika okuvaamu eddobozi eritategeerekeka ng’ereekaana.

l Yingini etandika okubuguma amazzi bwe gaba tegakola nga olukoba lw’emmotoka lukutuse.

l Emmotoka eyinza okugaana okutandika nga otaddemu ekisumuluzo. Olukoba lwa ffaani bwe luba nga lwonoonese n’olukoba ku Alternator nalwo luba terukola ne kiremesa yingini okutandika.

l Amataala nago gatandika okuziimeera ng’olukoba lwa ffaani lufunye obuzibu era bwe buba nga budde bwa kiro, gatandika okwaka nga bwe geekendeeza ate bwe gagira ne gaddako.

Kino kitegeeza olukoba lwa fan luba lulemereddwa okukwatagana n’olwa alternator.

Olukoba lwa ffaani luno bwe luba lwonoonese oba nga lukutuse, ekituufu oba olina kugula lupya, wabula ekiba kisinga obulungi n’oteekamu oba n’ogula olukoba olugumu. Okulussaako n’okulugula weetaaga abitegeera si kulwa nga bakuguza olunafu ku bbeeyi eya waggulu.  Noolwekyo funa omukugu ate nga mwesigwa.