ABAANA bangi bazaalibwa n’obuzibu bwa kamuli, omwana n’afuuka wa kyenvu.
Alina omulwadde wa kamuli, Jjajja Amina Nakirya ajjanjabisa eddagala ly’obutonde agamba nti, noga ebikoola by’omuddo gwa mukasa ebimuli by’omusambya n’akaddo ka
bwanda obifumbe owe omwana ku kagiiko anywe emirundi esatu mu lunaku. Obulwadde nga bufulumye omwana ayiwa amabwa.
Era kamula amazzi mu mukasa ogasse mu lusoggo otonnyeze mu maaso g’omwana era
obulwadde bujja kufuluma. Osobola okufumba ekibwankulata e kamunye n’owa
omwana n’anywa kuba enseke zibeera zizibikidde nga bino biyamba okuzizibukula.
BY’OKOLA OKWEWALA KAMULI
Musawo Farida Nassuuna agamba nti, kamuli gubeera musujja gwa nkaka nga kitera kuva ku maama kulya bubi ng’ali lubuto naddala obutalya bibala omuli emiyembe, ffene, amapaapaali n’ebirala ssaako enva endiirwa, omuli essunsa, doodo, nnakati, ennyaanya n’ebirala. Kyokka bikola bulungi ng’ofumbyeeko katono ate nga tobisiise.
Ekirala, omwana alina kamuli weewale okumwambaza, okumusitulira n’okumubikka engoye eza kyenvu