Ekkanisa ya Westminster Abbey esangibwa mu mu masekkati g’ekibuga kya Bungereza ekikulu London y’Ekkanisa enkulu ezze ekolerwamu emikolo gy’Obwakabaka bwa Bungereza emikulu omuli amatikkira, embaga z’Obwakabaka, n’okusabira ababa bafudde mu lulyo Olulangira okumala ebbanga erikunukkiriza mu myaka 1,000!!.
Ekkanisa y’emu ekoleddwaamu n’omukolo omukulu ogw’okusabira omwoyo gw’abadde Kkwiini wa Bungereza eyafa nga September 8, mu lubiri lwe olwa Balmoral, e Scotland, ku myaka 96. Mu kkanisa y’emu Kkwiini mweyagattibwa n’okutikkirwa.
Ekkanisa Ya Westminster Abbey bw'efaanana.
Ekkanisa eyasooka okuzimbibwa mu kifo kino yateekebwawo mu kyasa eky’ekkumineekimu (11) ng’ezimbibwa Kabaka Edward (the Confessor). Kyokka eno eriwo era eyindiddemu omukolo gw’okusabira Kkwiini yazimbibwa okuva mu 1245, wansi w’obukulembeze bwa Kabaka Henry III ng’ezze eddaabirizibwa.
Egimu ku mikolo egyakolebwa mu kkanisa eno
Kabaka George II ye Kabaka eyasemba okuziikibwa mu Kkanisa eno, olwo ne batandika okuziika mu kkanisa ya St. George's Chapel (ne Kkwiini Elizabeth II mw’agenda okuziikibwa), mu Lubiri lwa Windsor Castle n’awalala.
(Ebifaananyi bya AFP)