Kiruma naye nga tonnayita muguzi, sooka opime emmwaanyi zo ng’ozikomerera okakase nti, temuli buyitamu.
Singa omusuubuzi anaapima ng’obuzito si bwe bumu ng’omanya oyo akubba naye tekisobola kuba kusalawo kwa UCDA lwakuba abantu bakozesa amannya g’ebitongole nga bakimanyi omulimi ne bw’awulira linnya agenda kutya.
Ente y’amata nga eri ggwako ye ssente mmeka ate eterina ggwako ya mmeka?
Ente z’amata okuzifuna olina kugenda ku ffaamu ennungi ezirunda ente z’amata oba ebitebe by’ekitongole ekikola ku kunoonyereza ku by’obulimi (NARO) nga bano basobola okukuyamba okukufunira oba okukuyunga n’abazirina.