Obulabe obuva mu kutikka mmotoka akabindo!

BULI mmotoka ekolebwa nga erina ekipimo ky’obuzito bw’erina okukomako era singa ebusussa ebeera ekosebwa era oyinza n’okugifiirwa.

Obulabe obuva mu kutikka mmotoka akabindo!
By Huzaima Kaweesa
Journalists @New Vision
#Agafa ku bidduka #Mboozi

BULI mmotoka ekolebwa nga erina ekipimo ky’obuzito bw’erina okukomako era singa ebusussa ebeera ekosebwa era oyinza n’okugifiirwa.

Ennaku zino abamu ku bagoba b’ebidduka bafa ku byanfuna nebatikka ebintu ebingi ku mmotoka ebisukka obuzito bwerina okwetikka. Kino kivaako emmotoka okwonooneka empola ng’omugoba waayo tategedde agenda okukizuula nga embeera oluusi esajjuse.

Abas Nsubuga makanika wa mmotoka ku S.G Garage e Luzira agamba nti okutikka akabindo kyabulabe nnyo era kikosa emmotoka mu ngeri ez’enjawulo.

 

OBULABE OBUVA MU KUTIKKA AKABINDO
1 Bw’okuba ekinnya sekabuzooba ne sepulingi bisobola okwekanga ne bikutuka olw’obuzito bw’ebintu bwebibeera biwaniridde.

2. Emipiira gikosebwa; singa ebeera ezitowa bw’ekuba ekinnya omupiira gusobola okwabika, okufuna obuvune n’olupanka okukyama.

Obuzito bukoseza ddala emipiira gy’emmotoka kubanga giviirako n’enjola okuggwerera olw’obuzito obungi obubeerako nga buli lw’etambula ebeera ateeka amaanyi mangi ku ttaka ekigiviirako okuggwaako.

3 Yingini ne Giyabokisi; Omuntu buli lw’atikka ekisusse abeera atambulira mu ggiya nnene nga kino kitegeeza nti ebyuma bino bikozesa amaanyi mangi ekibiviirako okukaddiwa. Mu bbanga ttono emmotoka ebeera ekubanja okukola saaviisi nga kino kikuviirako okufiirwa ensimbi nga ogikanika buli kadde.

4 Emmotoka ebeera terina maanyi gatambula; buli lw’otikka akabindo emmotoka obeera ogitaataganyizza era ebeera tesobola kutambulira ku misinde gyayo gy’erina okutambulirako nga kino kibeera kigikosa.

5 Emmotoka esobola okulemererwa n’egwa; Singa obuzito buyitirira ku mmotoka kigiviirako okulemererwa okutereera ku ttaka kuba kiyinza okuba ng’obuzito businga ludda lumu nga kino kiyinza okugiviirako okugwa ekig