OKUFAANAGANA n’abantu, enkoko z’amagi zeetaaga okufiibwako naddala mu myezi ena egisooka, kuba wano we zikulira n’okuzimba ebitundu byazo eby’omunda ng’amagumba, nnabaana, amagi n’ebirala okusobola okukuwa ekisinga.
Ekimu ku birina okukolebwa, kwe kugema. Weetaaga okumanya nti, enkoko ez’enjawulo zeetaaga okugemebwa okw’enjawulo era kikulu okusaba ekipande ekirambika obudde n’engeri y’okugema obukoko bwo okuva eri kkampuni ebukuguzizza.
Okugema, kkubo eriyamba okuwa abaserikale mu mubiri gw’enkoko okulwanyisa obulwadde obubeera oba obwandizirumbye. Kino kiyamba omulunzi obutafiirwa singa ekirwadde kibeera kibaluseewo kuba ebeera n’obwerinde ekisobozesa omubiri okwerwanako.
Omusawo Nga Yeekebejja Enkoko.
lOkugema okusooka kwa‘Malekisi’ nga kuno kulina kukolebwa mu ssaawa 24 ezisookang’akakoko kaakaalulwa. Obulwadde buno businga kugemerwaku jjalulizo, kyokka tokitwala nti,kibakakatako era wandibaddeobuuza n’obeera mukakafu nti,ddagala obukoko bw’otwalabwagemeddwa.
lWakati w’ennaku 4-7, okugema obulwadde bwa Newcastleokusooka era wandikozesezza edIsaac dagala eririko Newcastle plus IB. Eddagala lino lirina okukuumirwa mu mbeera ya bunnyogovu kuba singa lissibwa mu bbugumu ly’onooneka mu ssaawa nga bbiri zokka, noolwekyo litereke mu firiigi. Liweebwa enkoko okuyita mu kutonnyeza ku liiso oba okutabula mu mazzi.
Bw’obeera otabudde mu mazzi, oluvannyuma lw’essaawa bbiri ng’omaze okuwa enkoko eddagala ly’okugema, yiwa amazzi ago era oyoze bulungi ebinyweero kuba mu kiseera kino eddagala libeera lifuuse butwa.
Obulwadde bwa Newcastle bwa bulabe ddala era olina okukakasa nti, ogema enkoko zo ku bulwadde buno kuba tebulina ddagala nga singa bubeera bulumbye ffaamu yo, olina kubuwa ddagala lya bakitiriya okumala ennaku nga ttaano.
lOkuva ku nnaku 10-14w’ogemera obulwadde bwaGumboro. Obulwadde buno businga kutawaanya bukoko butookutuuka ku wiiki nga mukaaga,nga bukendeeza obwerindebw’omubiri olwo obukoko bwone butandika okufa.
Bw’obeera olina enkoko nnyingi, eddagala ly’okugema lisse mu mazzi, wabula olunaku lw’ogenda okugema, sooka ozimme amazzi olwo ogende okussaamu eddagala nga ziyaayaana okunywa. Ziwe Vitamiini okumala ennaku ssatu ng’omaze okugema.
lKu nnaku 20, ogenda kuddamu okugema obulwadde bwaNewcastle era osobola okukozesaeddagala lya Newcastle omukaluoba okukozesa Newcastle PlusIB. Enkola y’okugema y’emung’eyakozesebwa mu kugemaNewcastle eyasooka.
lMu nnaku 24 ogema obulwadde bwa Gumboro omulundiogw’okubiri. Okugema era kugoberera enkola y’emu ng’omulundiogusooka.
lKu nnaku 45 oba wiikimukaaga, ogema obulwadde bwa Foul pox nga buno bweyolekera ku kuzimba amaaso, oluwonzi, obutalya n’okunywa obulungi n’ebirala.
lKu myezi ebiri (ennaku 60),osobola okugema obulwaddebw’ekiddukano ky’ebinyonyinga lino likubwa na mpiso mukisambi oba mu kifuba, ngakyandibadde kirungi okweyambisa omusawo omukuguokukugemera. Togema enkokoobulwadde buno, nga tezinnaweza myezi ebiri.
lKu nnaku 135 oba wiiki 18,oddamu okugema obulwaddebwa Newcastle. Kisse mu nteeka teeka zo nti, buli luvannyuma lwa myezi esatu, oddamu n’ogema enkoko zo obulwadde buno, kuba bwa bulabe nnyo eri bizinensi y’okulunda enkoko.
lKu nnaku 143 oba wiiki 19,enkoko zonna ziweebwa eddagala ly’okutta ebiwuka bye ziyinzaokuba nga zaalya nga zikula.
Wandibadde ogema enkoko olw’eggulo oba ku makya kuba eddagala erisinga bwe lissibwa mu bbugumu, lifuuka butwa. Mu ngeri y’emu towa enkoko zo eddagala ly’okujjanjaba (antibiotics) singa obeera waakagema.