FFENE kimu ku bibala ebyalibwanga abanaku era ng’abaana ku byalo balinnya emiti nga bwe baagadde ne balya, wabula leero yafuuka wa ttunzi era ng’omuntu okukusanga ku muti gwe oyinza okusibira mu kkomera.
Leero mu mboozi zaffe ez’omulimi asinga, HERBERT MUSOKE akuleetedde Keyz Smart Garden Farm abalimi ba ffene nga balina yiika ezisoba mu 45 mwe banoga obukadde bwa ssente ku kyalo Kabayima-Kikandwa mu Wakiso.
Empaka z’Omulimi Asinga zitegekebwa kkampuni ya VISION GROUP ng’eri wamu n’ekitebe kya Budaaki n’obuwagizi okuva mu bbanka ya dfcu, kkampuni ya KLM Royal Dutch Airlines ne Koudijs BV.
Joseph Kayizzi, maneja wa ffaamu eno agamba nti, baasalawo okutandika okulima ffene oluvannyuma lw’okukizuula nti, akatale ka ffene kanene kyokka ng’amakungula matono ddala olw’abantu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okutema emiti okuzimba, okulima n’ebirala.
Kayizzi annyonnyola nti, ffene alina emigaso mingi omuli; okuvaamu omubisi, okukola wayini, okumukaza, okumukolamu ensaano, okuzitoya enva n’ebirala, ebimufuula ow’ettunzi.
Okulima ffene baakutandika mu 2022 nga mu kiseera kino baalina yiika za ffene 15.Kayizzi agamba nti, ffeneky’ekibala ky’abanafu kubasinga omulabirira emyakaesatu egisooka, ebbangaerisigadde kubeera kulabiriramiti na kunoga.