MIKWANO mwebale kumalako mwaka. Munzikirize mbaagalize ne 2024 gwe twatandise eggulo abeera wa bisima byereere.
Ennaku zino ze twakayitamu mubaddemu okuyamba abatalina mwasirizi n’okufaayo ku balwadde n’abakadde.
Omulimu guno nagwenyigiddemu butereevu nga tulina bingi bye twagabye omwabadde engoye, emmere n’ebyokulya ebirala wamu n’okugaba ku ssente abantu bano nabo banyumirwe ennaku enkulu.
Ekyanziggye enviiri ku mutwe ye Mzeeyi gwe twabadde tugenze okulambula eyampise nga tufuluma mu ddiiro lye n’ankuba akaama akampaawaazizza amatu! Nasoose ne nsiriikirira kyokka bwe namutunudde mu mmunye nga mukalu muzibu.
Nnayitabye nti ‘wangi’ mu ngeri y’okwefuula ng’atawulidde bulungi kwe kukiddamu nti ‘Muwala nina omulimu gwe njagala okukuwa ate nga gusasula ekiwera.
Nkusaba ofunengayo obudde oba olunaku lumu mu wiiki ojjenga ondagenga ku ‘Nnabunnya’ nga mulimu n’akanyomero k’okumukwatako!
Muwala obimanyi tetukyalina mbavu bulungi, kati twasigaliza kuliisa maaso. Nze bwe ntunula ku ‘Deemu’ alabika obulungi nga ggwe obeera okinkoledde. Obadde okimanyi nti ekyo kinsala ne ku myaka,’’ Mzeeyi Kimbugwe bwe yang’ambye ne ntangaala.
Yannyonnyodde nti mukyala we yaggwa dda ku mpagala era mbu amagulu gaamwegaana dda anti ayavula bwavuzi (Mbu kyenkana gaafa).
Bwe gutuuka ku nsonga za ‘feeling’ ne bw’agezaako abeera ng’aweeweeta ekiti bwatyo takyalina waggya ssanyu.
Yawunzise aneegayirira nti nze nnina okumutaasa! Mzeeyi alina amaka manene ate yadde makulumu, gakyalabika bulungi ng’alinawo. Abazzukulu nga basatu abaalabise nga bajja mu ‘Holiday’.
Waliwo n’omukyala omukulumu abayamba ku mirimu n’omuvubuka alongoosa awaka, okukama ente kuba nalabyewo ente bbiri ng’emu erina ennyana.
Ensonga za Mzeeyi zaantabudde wabula n’ampaayo akaseera ngende neerowooze. Yansabye ennamba y’essimu kyokka mu kwagala okugimusomera yampadde ssimu ye ngiwandiikemu.
Mbeera nnyiga essimu nange nfune eyiye ku yange gye nagwiiridde ku mesegi ya Bbanka eya ssente ezaavuddeyo ku ATM ne bbaalansi asigadde ku akawunti....
Maama... maaama... maama, Mzeeyi nga binojjo...hooooooo..Wiiki ejja linda bye twayogedde ku ssimu ng’ambuuza oba ddiiru naagiggusa.