LAAVU ya mulokole munnange ate yo yabadde ya ngeri nga siiti. Obwedda kimu bibiri, nga gwe nkozesa yintaviyu anyigawo kya Yesu yeebazibwe.
Okubajjukizaako katono abayinza okuba nga temwasoma Sandra wa Lwokubiri oluwedde, twalina akabaga kwe twali nga kuliko abasajja n’abakazi nga ba ‘ddeemu’ bakozesa ba ‘men’ yintaviyu y’okukola omukwano.
Sandra Munnakibuga.
Nze gwe nasookerako yakola amaalo agasusse ne muta oluvannyuma lw’okutuulako mu Subaru gye nnali nvuga n’atandika okukungiriza nti atya okubeera n’omukazi amusinza emmaali. Gwe nnaddako okukozesa ‘yintaviyu’ yoono eyang'amba nti Mulokole.
Katono ntulike nseke bwe yangamba nti tusooke tusabeko ku kye tugenda okuyitamu. Okusaba kw’agenda bwe kuti: “Ayi Yesu Mukama, ggwe nnannyini byonna kwatira ekisa abaddu bo abali wano mu maaso go, wa omukisa kye bagenda okwanganga ate nange kennyini onnyongere amagezi agamulungula buli kibuuzo mwanamuwala ono ali wano mu maaso gange ky’agenda okumbuuza.
Ayi Mukama taata kkiriza mpitire waggulu yintaaviyu eno nsobole okwewangulira Omulungi ono gw’otunulako n’osabbalirawo mmanya ‘okukangabala, mu butuufu yeesaze akagoye era katono kannemese okutemya.
Ayi ggwe nnannyini byonna nkusaba ssinga mpita yintaviyu eno mpa amaanyi agamukalakata mmumatize aleme kuwankawanka.
Ngonnomolaako emikisa gy’okukola ‘Money’ ze nnaamuvujjirira era nsuumuke nve mu mmotoka Ipsum gye nzijiddemu gye nnasimbye ebusukka kkubo nga ndaba wano okumpi ne we tutudde wamaamiddwa ebyuma okuli ne Subaru gye ndabye mwanamuwala ono ng’avaamu.
Mukingirize abantu abakyamu, ab’enge, obubenje n’ebirala. Yesu Mukama yeebazibwe. Mu kifo nze okuddamu Amiina natulise ne nseka era yintaviyu we yakomye nga nze simubuuzizzaayo wadde ekibuuzo ekimu bwe kiti.