WIIKENDI ebeera nnyuvu naddala ng’ogenze n’odigidamu ate ne by’osanzeeyo ne bikunyumira. Nze ku Lwokutaano akawungeezi nakasibidde ku Serena mu konsati ya Hajji Haruna Mubiru Kitooke.
Abaabaddeyo ndowooza mwanyumiddwa. Omanyi yayimbidde mu bantu abamanyi obulungi ennyimba ze era abadigize naddala abakyala bakira mpulira ayimba nga nabo bwe bakooloobya.
Wabula nasoose kusaasira basajja abaayise ne bakyala baabwe abalina obuggya. Anti baasoose kutuyiwamu ba ‘Ushers’ hhamba bano abawala abalaga abantu we balina okutuula eno mu ‘babede’ abaasasudde emmeeza.
Sandra Munnakibuga
Baana bawala beesaze obuteeteeyi okwabadde siriiti lubalala! Kyenkana ebisambi bakira biyita bweru olwo n’olengera abasajja bwe batambuza amaaso, oli abeera atunuulira omuwala ajja ku ludda olumu ate ne zireeta omulala ng’ava ku ludda olulala nga bw’otaweerwa ofuna kanzunzu.
Nze nalengeddeyo nga basatu bokka abaabadde beesaze ‘biker’ munda! Waliwo emmeeza eyabadde etuddiridde kwe nnalabye katemba; omusajja eyalabise nga yabadde ali ne mukyala we ow’awaka bwe yasoose okutunuulira ba ‘usher’ ne baanabawala abaabadde beesaze obukete ng’amaaso bw’agazza eno bw’agazza eri.
Ndowooza mukazi we yalabye kiyitiridde kwe kumusindika omutwe ng’akozesa olugalo mu ngeri y’okukyusa feesi y’omusajja alekere awo okulozoolera.
Omusajja yabadde alinga asiriikirizzaamu okutunula ate Kitooke kwe kusuulamu oluyimba lwa ‘First Class’ olwo baanabawala ate ne babuuka mu bifo byabwe ne batema ddansi nga bwe banyeenya wato n’ebyensuti wamma ddala ne kyetinda.
Mu bano mwe mwajjidde kyanakiwala ekyesaze akatimba nga kampi bitya nga kirina Nyashi kabi kabi.
Musajja wattu gwe baabadde basozze olugalo ave ku kulolobala kyamususseeko bambi n’atunula ku kyanakiwala ate nga bwe yeetegereza.
Madaamu ku luno amaaso ga bba yagabisse na kibatu nga bw’asindika omutwe emabega era wano natulise ne nseka nga bwe nneebuuza oba lwaki omukazi taleka banne.
Okimanyi nti naffe bakazi bannaabwe obwedda tugira ne twewuunya obukete baanabawala bwe beesaze! Mbu embeera eno oluusi y’ewaliriza abasajja obutatambula na bakyala baabwe nti baggwebwako emirembe gy’okuliisa ku maaso.
Wiiki ejja lindirira bwe natetenkanyizza omusajja eyantutte mu konsati n’omusajja omulala gwe nasomako naye eyambadde ‘busy’.