ABASAJJA ndowooza tutandike kubakozesanga yintaviyu nga batukwana kuba wano w’otegeerera ali ku mulamwa, omuyaaye, anaavuya, omukwabuzi n’ekirala kyonna kyali.
Omanyi mulimu abasajja abamanyi okudyekadyeka abakazi ne babasuubiza ensi n’eggulu mpozzi n’omukwano omunyuvu kyokka gye bakomekkerereza nga bafuuse balambuzi.
Nnina akabaga oba giyite House Party kwe nabadde ku wiikendi ke baakatuumye ‘Yintaviyu Y’okukwana’. Waabaddeyo abasajja manya abavubuka nga balabika ng’abalina ku maja olw’ekifo kye twabaddemu n’emmotoka ze bazze bavuga gattako obwambalo bwe baabadde beesaze.
Wabula n’abawala twabadde tusabudde nga mulimu ‘ddeemu’ ezeesaze kookoonyo nga mu butuufu abasajja bajula butatemya ate nga ddala baanabawala balina emibiri kw’okomya amaaso n’otendereza ebyengera bya Allah.
Akabaga kaabaddeko amateeka ng’omuwala y’alina okubuuza ggaayi ebibuuzo n’addamu ebimubuuziddwa.
Okimanyi nti kwabaddeko n’abasajja abakulu abali mu myaka 65 n’okugenda waggulu. Embeera yabadde nti singa ofuna akwegwanyizza oba akusiimye nga mudda ku mmeeza yammwe babiri oba mu mmotoka y’omu ku mmwe ng’otandika kusoya musajja bibuuzo.
Nga bulijjo bwe saagala kwefeebya, nneesaze kasikaati k’ozingirira, abazungu gye bayita ‘wrapper’ nga bwe ntuula yeeta kyenkana kutuuka mu kiwato. Bbulawuzi yabadde ziri ezigwa ku mubiri nga tekuli mikono nga kyenkana okuba obufaananyi bw’ettutu bwe lifaanana.
Enzirusi najjidde mu Subaru XV eri mu UBQ…. Ng’eno nagigula gye buvuddeko ku ssente Muzeeyi Kimbugwe (oli ayafuna obukadde n’obukadde mu ssente z’akasiimo k’abawezezza emyaka egiwummula ku mulimu).
Waliwo abasajja nga bana abampadde ekigalo nga balaga baagala mbawe yintaviyu nga kirabika mbakubye.
Nasoose n’omu eyandabikidde obulungi ate ng’ali ‘smart’ ng’ono nange namukoledde ekigalo n’ajja we nnabadde ntudde. Namubuuzizza we tubeera tutuula kwe kwagala okuntwala ku mmotoka ye nga yabadde Premio eri mu UBB …. wabula nga nkulubufumu.
Twatuddemu eddakiika nga bbiri ne mmugamba tugende mu yange era olwagituuseeko yazze mu kutendereza kyuma nga bw’ambuuza gye naggya ssente… oba ddala kyange seeyazise kyeyazike.
Yatunudde okuva ku Dashboard mu maaso emitto ng’ali mu hooooo…. Hoooo ate ng’agira n’afulumako ebweru okwetegereza emipiira gye yatenze okusitula emmotoka waggulu ne kammyuziki akaabaddemu singa tubeera tugudde mu mukwano n’anziramu nti ‘’Siyinza kweteeka ku puleesa ya kumiranga panado buli lunaku mu biseera nga siri naawe.
Ekisooka onsinza ssente, teri musajja ayinza kukuyitako n’atakyusa nsingo. Ekinene ennyo nnyinza kukukavvulamu emirundi nga esatu ne nkita.’’
Ono nalabye nga taliimu mulamwa nga n’amaalo gamususse n’obwa simaati bwe yabaddeko ne ndaba nga bumufudde busa. Wiiki ejja, lindirira yintaviyu ku yeeyise Omulokole.