ENO enkuba ebadde etonnya akawungeezi ennaku ezo si katono ensuule ku migandu! Ku Lwokuna lwa wiiki ewedde ate yafudembye n'eyitirira.
Bwe ntyo mbeera nzira awaka mu jjaamu, ate saatomedde mmotoka y'omusajja eyambadde mu maaso!
Ensobi yabadde yange anti obwongo nabadde mbumalidde ku ssimu nga ndi ku WhatsApp nga simanyi nti Subaru eri mu kutambula so ng'abalala baabadde bayimiridde.
Sandra Munnakibuga.
Omanyi Subaru nagissaako ‘ggaadi' nga nkooye aba bodaboda n'abattakisi okunkulubula nga bampeterako.
Kati ggaadi y'omu maaso ye yanyize Harrier y'omusajja emabega. Yagisibye n'avaamu mangu n'ayolekera Subaru yange muli ne ntya nti oba agenda kunsatta oluyi. Engeri gye nnamulabye ng'afuluma mmotoka nnalowoozezza mangu ku kigenda okumukkakkanya kuba yabadde mu myaka nga 30.
Omanyi ntera okwesala busikaati bwange obumpi nga ne ku mulundi guno ke nnabaddemu. Nayongedde okukasika ‘Ebithambi' byonna ne bisigala bweru nga bw'ombeera mu maaso akabikka ‘Namusisi' zi kano ekya ggwe obutanyiigira obeera okalengera.
Nnassizza endabirwamu y'oku luggi lwange era ggaayi eyabadde atandikidde mu ggiya mu Lungereza nti 'Why have you..' ate yazze mu 'Aaaaaa nnyabo Miss Subaru ng'onkozeeko damegi mukwano..'' Olwo amaaso gaabadde gaggweeredde ku bisambi era teyatidde kung'amba mu kiseera ekyo nti 'You have beautiful thighs'.
Mu kiseera kino abaatubadde emabega baabadde batandise okukuba eng'ombe nange kwe kumusaba tupaakinge ebbali tulabe bwe tumaliriza ensonga.
Oba ebithambi bye byawunzizza ggaayi, bwe yangoberedde we nnabadde nsimbye mmotoka ate yazze mu ‘Anyway aweenyize si wanene nnyo kirabika wasobola okutereezebwa.'
Bwe nnamubuuzizza eky'okukola ate yazze kuba mukwano sigenderedde kunyiga bampa ya mmotoka yo. Ggaayi yangambye nti okukusonyiwa nakusonyiye dda olwo kwe kunsaba nange mbu mmukolereyo eky'amagero.
Namutunuulidde mu maaso nga yenna ayenjebuse ne mmubuuza ekyamagero ky'ayagala mmukolere. Wakati mu kuteekako lusimayiro yagambye 'Mbadde nsaba nange onzikirize....... .just aaaa nkwateko bukwasi ku bitha......... nange nkibalire awo.
Okwongera okumucamula namugambye akozese sikonda 10 zokka si kulwa nga nange anteeka mu mbeera enzibu. Ggaayi sikonda 10 zaafuse nga 30 era yagenze okukutaamulukuka nga ffulaayi y'empale ewaze.
Yazzeeyo mu mmotoka ye nange ne nsimbula ne ng'enda nga ntendereza amaanyi g'amagulu agamponyezza.