...KA ng'ume ekyazze kibe, Mungu alikulaba emisana n’ekiro, ka nfube hhume omutima, bw’oba onkyaye nkwerabire... tu...tu..
Oba Mungu anandaba kiro oba misana, kye nkugambye kyekyo.
Kiddemu omulundi gumu nkakase oba mu mazima ddala togenda kunnyamba?
Nkiddamu, ekyo ky’onsaba nkukolere, sijja kusobola kukikola.
Oba waliwo eyakedde ku makya okukuggyako ‘waya’ nsooke nkuweemu obudde nnaakuddira edda ng’oteredde?
Roshana Nassiwa Bw'afaanana.
Ng’okomawo kukola ki? Njogedde Luganda nti, sinoonya bavubuka nga ggwe.
Kyonna abavubuka kye twakukola njagala okutwala omukisa guno okukwetondera ku lwabwe bonna...
Ne bw’oteetonda munnange, abavubuka nnabeesonyiwa ng’enkoko bwe yeesonyiwa okufuuyisa ng’ate enywa amazzi.
Naye maama! Engero ng’olina nkulu bulala, olabika toli wa jjo?
Ate ndi wa jjo jjuuzi kuba nnina emyaka 24 gyokka.
Shiaa... abawala n’okwagala okwetootowaza! Kati bwe mwogera amazima ani agenda okubavunaana?
Bw’oba owakana nga nkuwa essimu ya mmange Olivia Nakakande ng’omubuuza.
Nze nkulaba olina ekisa ku maaso, lwakuba gano agavubuka ga kuno ge gaakuleeta ebinuubule ku mutima. Oyagala musajja ng’alina bisaanyizo ki?
Njagala ggaayi nga yava mu buvubuka, nga muwanvu, ng’alina omukwano, ne bwe mba mukyala nnamba bbiri sifaayo. Alina okuba ng’alina ku ssente ate ng’azigaba.
Sooka olindeko katono nve wano ewali ebireekaana... Mpulidde ng’agamba nti, ne bw’oba mukyala nnamba bbiri tofaayo?
Kyekyo ky’owulidde kuba era mutulimba bulijjo nti, tuli ba nnamba emu ng’ate tulinga mukaaga.
Mwana ggwe mbadde nkusaba weesimbewo tukulonde, tosangikasangika era weetaaga na kusimbira bitooke buli w’oyita...
Ha ha ha ng’ate ebitooke osimba byaki? Oyagala kwewakana nti, bye njogeddeko temubikola.
Mpa ku mannya go ne gy’obeera, nfune ne we mbiwandiika kuba biyinza okumbulako?
Nze Roshana Nassiwa mbeera Luweero.
E Luweero eyo okola mulimu ki?
Ndi muzannyi wa ffirimu ate nga nnina n’edduuka lye nkolamu.
Ffirimu ozizannyira mu kibiina ki nange nzije nneewandiise waakiri naazannyako naawe?
Nzizannyira mu Bruno Films ekya Bruno Betty owa Bukedde TV.
Waakazannya ffirimu ki na ki okuva lwe wayingira ekisaawe ky’okuzizannya?
Nazannyako ffirimu gye bayita Love letter, Umbutu, Disappointment, Ebibala by’omukago ne Scovia eya Bruno Betty.
Bitundu ki by’osinga okumanya okuzannya?
Njagala nnyo okuzannya ebitundu by’omukwano kuba nagwo ngulina.