Owaaye mbadde mmanyi oliko gwe wazze naye, naye ng’enze okulaba ng’obudde bugenze tewali ajja, kwe kusalawo okujja nkubeesebeeseeko si kulwa nga weebowa.
Kati ky’ogamba ggwe okola gwa kubeesabeesa bantu bajja wano, naye sibuuza mu bubi.
Kkiriza nkubuuze ne kino, ntera nnyo okukulaba, ky’ogamba ggwe toyagala kutambulako na musajja?
Nyumirwa nnyo okubeera nzekka naye n’omusajja yennyini sinnatuusa kumwetaaga nkyanyumirwa obulamu obwomu.
Vanessa Bw'afaanana.
Era ebyo obyogeranga nze namala dda okufuna owange mbadde ng’enda kukuteeramu kano akayimba k’aba Good Lyfe aka ‘leero tompona’ naye awo navaawo nasigala kubalaba bulabi.
Ky’ogamba bwe baleeta abatiba nga nange ontwala? Abawala nga batiba wano ku kibuga mpozzi okyogedde kunkiina nga bwe bagamba akiina embwa akabina.
Anti munnange bagamba tebifaanana abifuna naye nze ku lwange oli wakabi, naye tuveeyo eyo ombuulire ku mannya ne by’okola osanga naakuwagirako bwe mba mbisobola.
Nze Nesa K nga mbeera Salaama Rd mu Dubai Zone nga ndi muyimbi, model era omuzannyi wa ffirimu.
Emirimu ng’okola mingi tegiikukutule ne gikukaddiya ku myaka emito gy’oliko wadde wagaanyi okugyogera!
Buli kimu nkikola mu budde bwakyo omanyi ensi kuyiiya bwotega ogumu osemba nakyo.
Naye amannya ge wampadde aga Nesa K ky’ogamba ne mu kyalo gy’osibuka bwe ng’enda nkunoonya nkufuna?
Kati olwo osala lukwesikwesi lumbuuza mannya gange amatuufu naye osembye nakyo togenda kugamanya.
Ky’ogamba nkufaananira abalogo nti nnyinza okukuloga oba olina muggyawo ng’omutya okugamanya naye wagambye oli bwa nnamunigina sirabamu buzibu bugaana kugambuulira.
Owaaye kirabika wanzijiridde kangakubuulire okkakkane. Nze Vannessa Kalungi eyakuyimbira akayimba ka ‘birowoozo’ akaacaaka ennyo ku mutimbagano naye eyakayimba nga tebamumanyi.
Wagambye ozannya ne ffirimu wali obaddeko mu ffirimu ki era ozannyira mu kibiina ki?
Nzannyira mu Moon Avenue nga ndi mu firimu gye bayita Life of the Slay Queen era omwo nzannya nga ndaga obulamu ba Slay Queen bwe bayitamu obw’okusiiba mu bbaala nga banywa n’okucakala okukola nga kutono.
Kusoomoozebwa ki kw’otera okusanga mu mulimu gw’okola ogwa ffirimu?
Okusoomoozebwa kungi kuba olumu tugenda mu byalo okuzannyirayo ng’aw’okusula tewali, ensasula embi n’ebirala.
Ng’omuntu eyali aguddeko mu mukwano, kusoomoozebwa ki kwe wali osanze nga tolikwerabira?
Nze kuva buto nali ndayidde obutayagala musajja mwavu naye munnange lumu nakwanibwa ggaayi nga yali mwavu wabula ne nsalawo okumuwa omutima gwange wabula saamanya nti n’akamotoka ke yali ajjirangamu okundaba yeeyazikanga keeyazike. Olumu abeera azze okundaba emmotoka n’emufaako kyokka nga talina zaakugikanika. Ggaayi yeekaza nti mmuwole ssente akanike emmotoka kyokka nga ssente tazimpa!
Fumita emboozi kati olwo wamuwa?
Engeri gye nali mmwagala, nnaatuuka ku ssa eririmbalimba maama n’ampa emitwalo etaano ne nzimuwa ne yeetetenkanya n'agikanika kyokka kyambuukako enkeera bwe yankubira essimu ng’ansaba era okumuwola ssente ne mmugamba owaaye baakugamba ndi sugar mummy? Lwaki si gwe wafuna?
Kiki ekikufuula omuwala ow’enjawulo ku banno?
Nze ne bwemba sirina musajja tosobola kunsanga nga ntaawa ng’abawala b’ennaku zino oli atuuka n’okwetega afune abamukwana.
Suubiza oyo alikwewangulira ebirungi by’alikusangamu.
Mmusuubiza nti ajja kuba atutte omukyala omutetenkanya ate atazaalangako.