Owange ggwe omuyizzi wa kuno, okakasa ensolo gy’ogenda okuyigga onogikwasa ng’otambula nga bambejja?
Ky’ogamba ndi mubi nnyo ndyoke nkole emirimu gy’abasajja?
Ekyo sisobola kukyogera naye nkulaba okwataganye; Eno nsuwa ate ffumu ng’ate ntera kubiraba na bayizzi?
Lino effumu ndikwata kukuuma mwanawattu, ate munnange atawubira nsiko ye...!
Ate ebyo mwabitandise ddi? Ensiko gy’owubira eri ku kibanja ki?
Eri ku kibanja kye bayita mwami Timothy Jemera.
Kati omuntu eyeegwanyiza ensiko yo bw’omala okumufumita effumu ate olwo ensuwa yo n’ekola etya?
Ensuwa ngikimiramu mazzi ge mpa omwana wa bandi kuba amazzi g’ensuwa gamuwoomera okufa.
Abawala temukyasiba zikweya, lwaki temwagala kugabana na bannammwe?
Amazima ga Katonda ali mu ggulu, nnyabo siriyagala muggya wange era alina kumpita wala.
Ebyaddala, mwami Jemera omwagala ebitali bya kwekoza! Yakukolera ki ekyo ekyakulekamu looko?
Ekyenjawulo ky’alina, asoosoowaza nnyo ebyetaago byange okusooka nga tannaba kwerowoozaako.
Mpaayo ekintu kimu ky’ayinza okukola n’omukyawa obulamu bwo bwona?
Obwedda bye njogera by’otowulira? Eky’okumukwata ng’alina omuwala omulala gw’apepeya nayekimmala okumwesonyiwa.
Ye mwami Jemera akuliisa ki ekyo naffe tukigulire abaffe tulekeraawo okukuba emimiro nga tukulabyeko?
Njagala nnyo akawunga n’ebijanjaalo oba kawo.
Bajjajja ffe bagamba nti okuliraana omukulu ataddiza waakiri oliraana empumbu, mukulu Jemera wamuddiza ki okumusiima by’akukolera?
Namuzaalirayo omwana ow’obulenzi ayitibwa Mason.
Ebintu by’okwagala omusajja wo wabirabira kw’ani oyo eyakuwa ku notisi ze?
Mmange Aminah Kibuuka, teri mukyala amusinga mu nsi yonna.
Muze ki gwe walina mu buto ogwakukubyanga kibooko buli lunaku?
Hahaha.....! nalina omuze gw’obutambala ngoye oba zaalinga zinsiiwa?
Ng’oggyeeko ogw’okulabirira omwanawattu, mulimu ki omulala gw’okola mw’oggya ensimbi ezikubeezaawo?
Ndi muwandiisi ate nga ndi mubazi wa bitabo, ekya ssente ze ndyako bbebi Timothy yakimala kuba tanjuza.
Ng’oggyeeko okusanyusa bbebi Timothy, kiki ekirala ekikuleeta akaseko ku matama?
Okubeerako ‘out’ ne mikwano gyange nga tunyumirwa.
Nnyabo mpa ku mannya go ne gy’obeera nkusiibule.
Nze Rahma Rannie Jemera Kibuuka mbeera Nansana.
Nkutadde
Nange ng'enze kusanga mwanawattu Jemera.