Mpulidde ennyonza wano ne ng'amba ka nzije nginoonya.
Ennyonza? Wano sirabawo kinyonyi kyonna.
Kye ntegeeza kiri nti, mpulidde eddoboozi esseeneekerevu ne nzija nga ndigoberera naye olutuuse wano ne lisirika!
Kirabika owulidde nze. Omanyi ntera okukookamu mu biseera byange eby’eddembe.
Nga ‘just’ omuumuunyamu oba ng’oyimba ebyaddala?
Nga nnyimba byaddala kuba ndi muyimbi.
Mbuulira ku nnyimba ze wali oyimbye?
Nze nakuyimbira; Kafulu, ‘Winner’, Sweet Heart, n’akapya ke nnina ke bayita ‘Ewooma’.
Olwo bw’oba oyimba okozesa mannya ki?
Sylivia Kuliva.
Okuba myuziki kika ki?
Buli kika nkiyimba kuba okuyimba kwange saayiga kuyige, kitone nazaalibwa nakyo.
Biki ebisinga okukuzzaamu amaanyi mu lugendo lwo olw’okuyimba?
Okuyimba ku mikolo ne ndaba omugole ng’asonga obugalo kinzizaamu amaanyi nti bye nnyimba bimukolera.
Ate kiki ekisinga okukuwa emirembe?
Okubeera n’omwami wange n’abaana bange nga mbalabako, mba mpulira ng’ensi yonna endi mu ttaano.
Ebisinga okukuwoomera nabyo bihhambe
Amagi amasiike, ettooke n’enkoko. Ate caayi w’ebibala oba aliko ebikoola ng’omudalasiini oba omujaaja ampoomera okufa obufi.
Okola gwa kuyimba gwokka?
Nedda, waliyo kkampuni emu gye nkolera nga nze nkulira ekitongole ekitegeka ebivvulu, okuyimba, okutimba, okufumba n’okuyamba abantu okuteekateeka emikolo gyabwe. Tuzannya ne ffirimu.
Emirimu ng’okwasaganya mingi, okikola otya?
Buli kimu nkiwa obudde bwakyo obutuufu.
Simanyi naawe olinayo abayimbi be weegomba?
Wano e Uganda; Winnie Nwagi akinkubira ate ebweru Yemi Alade enzaalwa y’e Nigeria mmumatira.
Buvaazi ki obusinga okukolera?
Sisosola mu ngoye kuba zonna zinnyumira ng’era nnyambala nsiziira gye mbeera ndaga.
Ka ffiga okakuuma otya ne kakuba abalogo?
Ndya nnyo ebibala okukuuma omubiri nga kuno kwe ngatta n’okunywa amazzi agabuguma nga mmaliriza okulya kuba sinywa ga nnyogoga.
Mukama omusaba ki omwaka ogujja?
Okubeera obulungi okusinga bwe ndi kati, n’okumpa obulamu kuba bwe bugagga.
Abawagizi bo bawe obubaka
Buli muwagizi wange mmwagaliza omwaka omuggya ogw’emirembe.