Balamu ba mukwano gwange balemeddeko okutwala mutabani we ku DNA!"

Sandra munnakibuga ; Kyewuunyisa nti mukwano gwange Teddy ne gye buli eno awulikika nti ayaayaana okulaba owa bodaboda gw’agamba okumuzaalamu omwana

Balamu ba mukwano gwange balemeddeko okutwala mutabani we ku DNA!"
By Ssenga wa Bukedde
Journalists @New Vision
#Sandra munnakibuga #DNA #Ssenga wa Bukedde

KYEWUUNYISA nti mukwano gwange Teddy ne gye buli eno awulikika nti ayaayaana okulaba owa bodaboda gw’agamba okumuzaalamu omwana bwe yamufunyisa olubuto ng’amuggya ku kivvulu ky’omuyimbi omu mu 2019. 

Oba akiteeka ku kwagala kuddamu kumulaba nga taata wa mutabani we owa ddala oba ayagala kumuvunaana kumukolako buliisa maanyi!

Wabula bw’abeera anyumya ku ngeri gye yeesanga ng’ali mu loogi alaga nga ggaayi ono bwe yamukalakata ebiriyo mbu era yamusumulula ne taapu bye yali aludde okusumulukuka.

Akiggya ku kuba nti bwe ‘yadda engulu’ yagenda okwetegereza obuliri kwe yali nga kyenkana bwonna butobye mbu era kirabika yamukoonanga awatuufu n’atiiriisa. 
 
Bwe yeekebera yeesanga ng’akaleega n’akawale byawukanye ku mubiri ggwe nga n’ekifo mwali takitegeera.

Teddy agamba nti ekyamuyamba bwe yatunula emitwetwe ng’alengera akasawo ke era bwe yakasumululu, essimu ne ssente ze nga bikyalimu.

Wabula ‘Missed calls’ ze yasanga ku ssimu zaali mpitirivu ng’ezisinga za taata w’abaana. Olwo essaawa zaali ziyingidde 9.00 ez’ekiro

Yakubisaamu okutambula obudde obwo nga bizibu, kwe kusalawo akeeseze mu loogi. Mbu enkeera engeri gye lwali Lwamukaaga, awaka yaddayo ku ssaawa 2.00 ez’oku makya.

Bba ‘yamugeta’ nga bwe yali asuze mu mikwano gye kuba baamaliriza obudde buyise n’atya mu kkubo kuba mu kiseera ekyo waaliwo abatuuze bana mu kitundu mwe basula be baateega ku ggeeti ne babanyaga.

 Teddy agamba nti ye ne bba bali bafunyeemu engeri y’olusirika nga buli omu anyiigidde munne. Embeera eno ye yaleetera Teddy okukakasa nti olubuto lwali lwa musajja wa booda kuba bba yali amaze wiikinga 6 nga takavvula!

 Teddy bwe yabalaabalamu ng’alaba olubuto si lwa bba, ate kwe kutandika okuyiiya okwetega bba alabike nga ye nnannyini lubuto.

Omwana yazaalibwa bulungi nga bba taliimu nkenyera yonna. Kati olusozi Ggambalagala lw’aliko lwa balamu be abalemeddeko nti omutabani bamutwale bamukebere DNA mbu kuba talina w’afaanana muganda waabwe wadde abaana b’awaka. 

Wabula ate bba ayagala omulenzi okukamala era waliwo lwe yajaganya nti ‘Nfunye omusika’! Teddy ali mu kulwana kusirisa balamu be baleme kweyingiza mu bya maka gaabwe kw’agatta n’okumetta bba laavu aleme kufuna kirowooza kya kukebeza mwana DNA.