Ebbaluwa ya ssenga eri abanoonya ababeezi

ENNAKU zino, abantu bangi tebalina mpisa era okuvuma, okuyomba okulwana, okutulugunya, okuwemula oba okufulumya ebigambo ebinene tebakitwala nga mpisa nsiiwuufu.

Ebbaluwa ya ssenga eri abanoonya ababeezi
By New Vision Journalist
Journalists @New Vision
#ebbaluwa ya ssenga

ENNAKU zino, abantu bangi tebalina mpisa era okuvuma, okuyomba okulwana, okutulugunya, okuwemula oba okufulumya ebigambo ebinene tebakitwala nga mpisa nsiiwuufu.  

Naye ggwe anoonya omubeezi gw’onoobeera naye, olina okugenderera ebigambo oba engeri gy’ayisaamu abantu abalala. Engeri omuntu oyo gy’ayisaamu abalala, naawe gy’aba ajja okukuyisaamu. Bw’aba muvumi, ekiseera kijja kutuuka naawe akuvume.

Abavuma abantu, ebiseera ebisinga gw’aba avumye aba amulaba ng’atali muntu era tamulaba nga kitonde kya Katonda nga ye. Aba alaba asukkulumye nnyo. Ono bwati mwegendereze kuba bw’omufuula munno, naawe aba ajja kukuyisa bwati. 

Edda, abasajja be baali abalwanyi naye ennaku zino n’abakazi balwana. Omukazi akulaga nti mulwanyi aba ayagala kukukakasa nga bw’alina amaanyi ate era abeera n’obusungu bungi. Kati omuntu atasobola kufuga busungu, tabeereka naye kuba asobola okukutuusaako obulabe nga musoowaganyemu katono.  

Ate omuntu omuyombi alowooza nti ye mutuufu buli kadde ng’oluusi ensonga aba tannagitegeera ng’atandikirawo kuyomba. Bw’omulaba nga mwakatandika nga buli kadde ayagala ekikye kye kiba kikolebwa awatali kuwakanyizibwa kitegeeza aba tajja kukuwa mirembe ne bwe munaaba mukoze amaka. 

Okutulugunya kubi nnyo era oluusi be yali atulugunyizzaako tebasobola kumwagaliza mirembe. Kitegeeza nti ne bw’onooba omututte, mu maka gammwe temujja kuba mirembe olw’ebikolimo by’abo bye yatulugunya ebimulondoola.  

Ate waliyo abawemuzi oba abafulumya ebigambo ebinene. Oyagala okubeera ne taata w’abaana oba ne maama w’abaana  ng’afulumya ebigambo ebinene? Abaana bammwe banaabeera batya mu nsi muno nga balina obuswavu bw’abazadde? Ate era manya nti n’abaana basobola okukula ng’okufulumya ebigambo ebinene tebakirinaamu buzibu. Ebigambo ebyo biruma era bisigala ku mutima. Oli n’akugamba nti; ‘Olinga … n’assaawo ekigambo ekinene. Ono tabeera muzadde mulungi era abaana tebasobola kumulabirako kirungi era aswaza. 

Noolwekyo, abanoonya mulonde abaami oba abakyala abalina empisa mu kamwa n’ebikolwa nga birungi. Lowooza ku baana b’ogenda okuzaala n’empisa ze bagenda okulaba n’okukoppa olw’okuba tewalonda bulungi.