Ebbaluwa ya Ssenga ; Lwaki weemakulira mu nsawo y'omusajja?

MWANA wange weewale okukebera ensawo n’ebintu by’omusajja. Omuntu yenna abeera n’ebyama ebibye ng’omuntu.

Ebbaluwa ya Ssenga ; Lwaki weemakulira mu nsawo y'omusajja?
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Ssenga

MWANA wange weewale okukebera ensawo n’ebintu by’omusajja. Omuntu yenna abeera n’ebyama ebibye ng’omuntu.

Sirowooza nti osobola okuwulira obulungi singa omwami waffe akebera
ensawo yo nga tomanyi.

Newankubadde mulimwami na mukyala naye bw’osanga nga munno ensawo kuliko kkufulu olina okumanya nti waliyo ebintu ebiri mu nsawo eyo munno by’akuuma nga
byakyama.

Omwami waffe yangambye nti bw’akomawo n’agenda okunaaba olina omuze okukebera ensawo z’empale era bw’osangamu ssente taddamu kuziraba. Ng’ovudde kwekyo ensawo y’omwami wookusinga eb eeramu ebintu ebikwata ku mirimu gye. Naawe okimanyi nti omulimu gubeera mulimu.

Kati ate ggwe ebyemirimu oyagala kubigatta na maka gammwe. Kye wakoze si kirungi okutambuza ebyama by’emirimu gy’omwami waffe mu bantu abalala.Abasajja bangi tebeesiga bakyala ku nsonga nga zino kubanga ffe abakyala tulina embeera ey’okutambuza ebigambo mu bantu. 

N’ekirala mwana wange okubba omwami wo si kirungi. Omwami waffe agenda kutandika obutakwesiga.

Buli muntu oba mufumbo oba si mufumbo abeera n’ebyama ebibye. Newankubadde
muli bafumbo buli omu alina ebintu by’alina okwesigaliza ng’omuntu. Ebyama bya munno eby’emirimu biveeko. 

Ate bw’otandika okutambuza ebyama by’emirimu gye mu bantu obeera omukoze obubi kuba asobola n’okufiirwa omulimu gwe.

Kati bw’afiirwa omulimu olowooza ani asinga okulumwa. Ku nsonga ey’okubba ssente z’omwami waffe ekyo wandibadde okiviirako ddala. Ekisookera ddala ofuna ssente z’akameeza, buli kimu mu maka omwami waffe akikolako. Baganda bo obalaba batawaana n’amaka era bafuuka abasajja.

Naye ate bw’otandika okubba ezize oba okoze bubi. Omukyala bw’omulaba ng’akubba ng’omanya nti asobola n’okubba ebinene ng’ebyapa, ekiraamo n’ebintu ebirala ng’ebyo. Kati ggwe w’obbira ssente kitegeeza olina obusobozi okubba ebinene.

Kati omwami waffe tagenda kubeera na bwesigwa gyoli. Abasajja ennaku zino batandise okutya abakyala. Anti eby’okubba bwe bibula nga mutandika kulowooza kutta baami bammwe.

Ekikulu mu kisenge musulamu babiri era bw’atabeera ggwe ani asobola okumubba. N’ekirala abasajja bamanyi okutega abakyala. Ggwe n’olowooza nti tebakumanyi naye omusajja akumanyi bulungi n’emize gyo. Totuswaza.